SSENTEBE wa Kyengera Town Council, Mathias Walukagga asekeredde abalowooza nti tannatuuka ku mutindo gwesimbawo ku bubaka bwa Palamenti. Walukagga, aliko omukolo gw’okusaba kwe yabadde mu Kyengera n’ategeeza nti okuva lwe yalangirira nti ajja ku ky’omubaka wa Busiro East, ebigambo bingi ebizze byogerwa nga n’abamu baamutuumye erinnya lya ‘Kimbuyege’.
Bano abasekeredde nti kuba ye mukulembeze wa bikolwa so si kwogera nti era yazze kukyusa bulamu bwa Bannabusiro n’okukola ku bizibu bye bakaaba. “Abalonzi be bansaba okwesimbawo ku kifo ky’omubaka wa Palamenti era nange ne nkirowoozaako kwe kusalawo okukola bye baagala,’’ Walukagga bwe yategeezezza. Abalala abeegwanyiza ekifo kino kuliko; Medard Seggona (aliyo kati), Hajji Abdul Kiyimba, Charles Wilson Ggala ne Charles Magoola