ABAAGANYULWA mu nteekateeka ya State House eya Youth Wealth Creation programe mu munisipaali ya Nakawa ne Makindye baweze nga bwebagenda okulonda President Museveni kuba balaba yalina obusobozi.

Abamu ku baaganyulwa mu Youth Wealth Creation e Nakawa ne Makindye nga bayisa ebivvulu.
Bano ababadde bakulembeddwaamu akulira Youth Wealth Creation, Faisal Ndase bino babyogedde bwebabade mukuyisa ebivulu eby’okwaniriza omukulembeze w'eggwanga abadde akyadeko mu bitundu bino ng’aperereza abalonzi okumuwa akalulu.
Banadde banyumidde mu ngoye za kyenvu okuli ebifaananyi bya puledizenti Museveni era nga bawanise ebipande kwali wamu n’avunanyizibwa ku maka g’obwapulezidenti Jane Barekye kwe babade batadde obubaka obubasuuta.


Omukyala eyaganyulwa mu Youth Wealth Creation ng'esanyu limuli bulala
Faizal Ndase, agamba mu Kampala abantu beetegefu okulonda Museveni nadala abo abaganyuddwa munteekateeka gy’akulira eya Youth Wealth Creation, ey’okwejja mubwavu.