NNAABAGEREKA Sylvia Nagginda ali mu nkambi y'Ekisaakaate eyakubiddwa ku Hormisdallen P/S e Gayaza mu ssaza ly'e Kyadondo.

Despina Nabbosa ng'anyonyola Nnaabagereka ebintu ebikozesebwa mu bulamu bw'Omuganda
Ayaniriziddwa Minisita w'Enkulakulana y'Abantu ba Buganda era avunanyizibwa ku ofiisi ya Nnaabagereka, Coltilda Nakate Kikomeko wamu n'abakulira essomero lino.

Abakulu ku Hormisdallen schools nga baaniriza Nnaabagereka
Azze okulambula emirimu abaana gyebayize okuva lwekyatandika nga January 2,2026. Ekisaakaate kino Kya mulundi gwa 19 bukya kitandikibwa mu 2007