Amawulire

SUPREME Mufti wa Uganda Sheikh Mohammad Galabuzi asoomoozezza abeevuma obufumbo

SUPREME Mufti wa Uganda Sheikh Mohammad Galabuzi asabye Abakyala okwagaliza abaana baabwe bafune eky’okulabirako ekibubaagaza okubweyunira.

Ssekanyo ne Nabacwa nga basala keeki.
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

SUPREME Mufti wa Uganda Sheikh Mohammad Galabuzi asabye Abakyala okwagaliza abaana baabwe bafune eky’okulabirako ekibubaagaza okubweyunira.

Sheikh Galabuzi yewunyiza nti Omukyala amala ebbanga mu bufumbo n'asigala ng'abwogerako ng'obuzibu ennyo ng’ate abumazeemu emyaka 40 n’abasaba okukyusa endowooza eno.

Supreme Mufti Sheikh Galabuzi n'abagole

Supreme Mufti Sheikh Galabuzi n'abagole

Okusaba kuno yakukoledde ku Buziga Islamic school mu Divizoni ye Makindye ku lwomukaaga ku mukolo Mwana Muwala Azidah Nabacwa Muwala w'omugenzi Sheikh Idris Lutaaya omu ku batandisi ba Buziga Islamic kweyayanjulidde Munne Ahmed Ssekanyo ng'ono mukozi mu kitongole ky'Obwakabaka ekya Nkuluze.

“Bamaama mwagazise abaana bamwe ab’obuwala obufumbo naye buli lwotuuza abaana b’obuwala, ahaa ntudde wano ku lwammwe, kituufu ekyo? Nedda. Mubabulireko nti obufumbo bulimuko ku mubisi gw’enjuki, mubagazise, obufumbo,”

Supreme Mufti Galabuzi yasabye abaagalana bano okwegabira ebirabo okusobola okunyumisa n'okuwangaaza obufumbo bwaabwe. Mu kino yabasabye nti buli omu lwatambula, asaanye okuba ng’agulirayo munne ekirabo.

Ku mukolo guno era gwetabiddwako Omulangira Khalifan Kakungulu okuva e Kibuli ng'ono asabye abafumbo bano kwekwata empagi y'amazima n'obuggumirizza okutambuza obufumbo bwaabwe buno.

Abamu ku Bakungu b'Obwakabaka abeetabye ku mukolo

Abamu ku Bakungu b'Obwakabaka abeetabye ku mukolo

Ku lw'ekitongole ky'Enkuluze, Simon Ssenkaayi yeyatuusizza obubaka bwa Mukamawe-Omuwanika w'Enkuluze Omukungu John Kitenda n'asaba abaagalana bano nti bwebazaala abaana basaanye okubatendeka babeere nga basobola okwogera Oluganda, nga kino kyakuweesa Obwakabaka ekitiibwa.

Omukolo guno gwetabiddwako ebikonge bino okuva mu Kika ky'endiga n'engonge saako Obusiramu ate n'abakungu bangi okuva e Mmengo okubadde John Kitenda, Omuwandiisi wa Kabaka ow'ekyama Dunstan Mukiibi, Omukungu Akulira polotoko e Mmengo, David Ntege, Eyaliko Minisita w'entambula za Kabaka Kabuuza Mukasa, omukwanaganya w’abavubuka mu Buganda Hassan Kiyemba ate ne Baker Ssejjengo ng’ono ye Ssentebe w’abavubuka mu Buganda eyawummula n'abalala bangi.

Ebirabo ebyatwaliddwa byabadde bingi okuli ente, ttanka y’amazzi,entebe ez’omulembe n’ebirala bingi era abaagalana bano bawooweddwa.

Tags: