WABADDEWO eky'ekango abatuuze bwe bagudde ku mulambo gw'omwana omuwala nga guvundidde mu kitoogo.
Bibadde mu kitoogo kya Musaale ku kyalo Namulaba mu Ggombolola y'e Kyampisi e Mukono, bwe bagudde ku mulambo gw'omwana omuwala.
Gubadde mu yunifoomu nga skirt ya navy blue nga kuliko erinnya Nanyonga V11 era nga poliisi etandikiddewo okunoonya bannyini muntu ono.
Waliwo abazadde abavuddeyo nga bagamba nti yaliba omwana waabwe eyabula nga November 01, kyokka nga poliisi ebakanye n'okunoonyereza nga beyambisa endagabutonde { DNA }
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago , okugwekebejja