Bakitunzi abeegattira mu kibiina kya Uganda marketeers’ association bawabuddwa ku ngeri yokusikirizaamu abaguzi n'okukuuma ekitiibwa kyebitongole byebakiikirira.
Ensisinkano eno ebaddemu bakitunzi abasoba mu 100 mu Uganda ebadde ku Hotel Africana mu kampala nga ebadde etambulira ku mulamwa gw'okulungamya bakitunzi abato okukyusa ettutumu lyebitongole byebakiikirira.
Rogers Anguzu kitunzi wa pepsi awabudde bakitunzi okuteeka kkampuni mu kkubo erigitwala mu maaso nga okozesa obukugu obwenjawulo.
Anguzu ayongdeddeko nti singa kkampuni ekyusa mu nkola yayo eyemirimu towakanya nteekateeka zaayo wabula noonya ngeri gyosikirizaamu bakozi banno batambule nekiriwo.

Bakitunzi nga bakubaganya ebirowoozo
Martin ssebuliba owa MTN agamba nti amaanyi ga kitunzi owomulembe galina kuba mu busobozi bwo okusikiriza bakozi banno oba bakamaabo okukola weninto nga bwobyagala.
Okukolera awamu kyanguyiza emirimu yensonga lwaki tolina kussaawo mukululo wakati wo nebakozi banno.
Bakitunzi era baweereddwa amagezi okufuuka bannakinku mu buli kyebakola , wabula kino kitwala ku budde era bakitunzi bawabuddwa obutapapira nsonga.
Abaakava ku matendekero aga waggulu bawabuddwa okusooka okukola ogwobwannakyewa nga bwoyiga emirimu, kino kyandikuyamba okukusigaza singa bakamaabo babaako obusobozi obwenjawulo bwebakulabamu.
Lu lubadde lukungaana lwa mulundi gwamwenda nga lugatta bakitunzi okuva mu bitongole ebyamaanyi mu ggwanga.