Amawulire

Abagambibwa okumala ebbanga ng'atunda enjaga police emukutte

ABANTU basatu abagambibwa okuba nti baludde nga batunda enjaga n'okugisuubula, bakwatiddwa poliisi mu kikwekweto ekikoleddwa e Kayunga Wakiso.

Ekimu ku tereke ky'enjaga
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABANTU basatu abagambibwa okuba nti baludde nga batunda enjaga n'okugisuubula, bakwatiddwa poliisi mu kikwekweto ekikoleddwa e Kayunga Wakiso....

Abakwate , kuliko James Kafeero, amanyiddwa nga Uncle Manda, Alioni Gasto ne Isaac Mwesigwa nga bonna batuuze b'e Kayunga mu Ggombolola y'e Ggombe.

Kigambibwa nti bano, baludde nga befuula abatunzi b'amanda mu katale k'e Kayunga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Wakiso nti kyokka ne benyigira mu kutunda e njaga.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Rachel Kawala, ategeezezza nti enjaga ewerako nayo ezuuliddwa era ng'okunoonyereza kugenda mu maaso

Tags: