OMUGAGGA w'omu Kampala Moses Kalungi Kirumira (Bill Gates) owa Kalungi Plaza ku Kampala road abaana be bamukoledde akabaga k'amazaalibwa ge ak'emyaka 48, ku lyato nga liseeyeeya mu sitaayiro.
Omugagga Klaungi ng'ajanjawaza ku kabaga ke akamazaalibwa 
Akabaga kano katandikidde ku Serena Hotel e Kigo we balinyidde eryato okugenda ku kazinga ka nnagagga Sudhir Ruparelia mu nnyanja wakati keyazimbyeko woteeri gye yatumye “Paradise Island” wakati mu luseregende lw’a maato ag’omulembe mwenda nga endongo bwesindogoma bakira nga buli mugenyi eyabadde omuyite alya bwanywa ky’ayagala okwabadde n’e myenge egy'e bbbeeyi.
Kalungi yagambye nti wadde mugagga abadde talina nteekateeka yonna yakukola kabaga k’okujaguza okuweeza emyaka 48, kubanga omwaka ogujja gw'abadde ategeka okukakola akabaga nga asabukulula ekizimbe gaggadde ekitudde ku yiika kkuumi.

Omugagga Kalungi Moses ng'ali mu masappe
Kino kisangibwa ku bittaala by’e Wandegeya okukkira ddala mu maaso ga geeti ya yunivasite y'e Makerere ekigenda okufaananira ddagala “Dubai Mall” nga buli muntu kyayagala akisangamu.
“Wabula batabani bange okuli David Kalungi (Kuzo), Gideon Kabuye Kirumira ne muwala wange Nichole Kalungi bwe bategekedde akabaga kano ng’ate buli kimu bakozesezza ssente zabwe nabadde siyinza kugaana omukwano abaana bange gwe bandaze” Kalungi bweyategezezza

Omusama Josephat Sseguya ng'ali n'omugagga Kalungi ku lyato
Kalungi yagambye nti tayinza butasiima katonda byamukoledde kubanga amwagadde nnyo namuwa ezadde mu bakyala ab’enjawulo, obugagga n’e rinnya gattako okuba nga nzde omu ku bagagga abasinga okubeera nga basomye.
“Nina diguli bbiri omuli ne y'amateeka gattako ne diploma y’amateeka ku LDC enzikkiriza okuwooza mu kkooti zonna ku buli mutendera gwa kkooti za Uganda” Kalungi bweyategezezza.

Nina ekizimbe ebiweera mu Kampala , fakitole kwengatta okulima n’okulunda, okusuubula okwetoloola ensi yonna era ye nsonga lwaki ne ku kabaga kange akamazaalibwa ketabiddwako Dr. Mercy Meherete okuva mu ggwanga lya Ethiopia bwetukolagaana mu bizinensi ez’enjawulo