RT.Major.Gen.Mugisha Muntu akungubagidde Kabaka w'aba Lango ayitibwa 'Won Nyanci'Yosam Odur Ebbi eyafiiridde ku myaka 99 n'amutendereza olw'okugatta ettafaali ku nkulakulana y'e Ggwanga.

Mugisha Muntu ng'akungubagira omugenzi
Gen.Muntu w'asaggulidde akalulu mu bitundu bye Lango nga bali mu kukungubagira Kabaka w'Abalango ayitibwa 'Won Nyanci' Yosam Ebbi olw'enmyaka 99.
Eno Gen.Muntu agenze mu maka ga Kabaka w'aba Lango agasangibwa ku kyalo Teboke mu Ggombola y'e Teboke okusaasira abantu b'e Lango.olw'okufiirwa Kabaka waabwe gw'ayogeddeko mugatta bantu
Wabula Gen.Muntu asabye abantu b'e Lango okusigala obumu nga Odur bw'azze abakubiriza.
Eno abakulu e Lango babuulidde Gen.Munti nti bakyagenda mu maaso n'okukungubagira Kabaka waabwe okutuusanga gavumenti efulumizza entekateeka entongole ey'okumuziika.
Mu kiseera kino Gen.Muntu ali mu kutalaaga Disitulikiti y'e Kole ng'asaggula akalulu