Amawulire

Akulira Youth Wealth Creation Program Faizal Ndase awabudde abantu okwekolamu zi SACCO kyanguyize gavumenti okubayamba.

AKULIRA Youth Wealth Creation Program okuva mu maka g’obwapulezidenti, Faizal Ndase, awabudde abantu abalina bye bakuguseemu okwekolamu zi SACCO gavumenti bwejja okwanguyirwa okubakwatirako.

Faizal Ndase ng'ayogera
By: Patrick Kibirango and Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

AKULIRA Youth Wealth Creation Program okuva mu maka g’obwapulezidenti, Faizal Ndase, awabudde abantu abalina bye bakuguseemu okwekolamu zi SACCO gavumenti bwejja okwanguyirwa okubakwatirako.


Bino abyogeredde Nansana bwabadde asisinkanye abakyala abakuguse mu kukola emirimu gy’omu mutwe okuli okusiba enviiri, okutunga, okufumba keeki n’ebirala.
Abakyala basabye Ndase abatuusize omulanga gwabwe eri akulira amaka g’obwapulezidenti Jane Barekye abayambe okubakwasizaako okufuna eby’etaaagisa mu mirimu gye babangusseemu.
Abategeezezza nti pulezidenti Yoweri Museveni akubiriza abantu bulijjo okwegatta basobole okuganyulwa mu pulogulamu za gavumenti ezize zisibwaawo gamba nga eya; Youth Wealth Creation program, PDM, Emyoga n’endala.

Faizal Ndase ng'ayogera eri abantu

Faizal Ndase ng'ayogera eri abantu


Ategeezezza nti pulogulamu zonna ez’okulakulanya abantu ezigenda mu maaso mu ggwanga lwakuba nti pulezidenti Museveni waali n’olwekyo basaanye okumuwagira bamulonde ekisanja ekirala alyoke agende mu maaso n’okubayamba.
Mulangira Harbert Kimbugwe, dayirekita w’ekibiina ky’obwanakyeewa ki Fight for Elders and Children in Africa (FECA) ekiwomye omutwe mu kusomesa abakyala bano alambuludde nti ekitongole kino kyakamala emyaka egisoba mu 7, nga kiyamba ba maama okubaako bye babayigiriza ng’omwaka abakyala 600 bagenda kuweebwa amabaluwa gabwe oluvanyuma lw’okumala emyezi 6 nga basomesebwa era n’asaba gavumenti omukwasizaako
Tags: