Vision Group esiimye Stanbic Bank

AKULIRA Stanbic Bank Anne Juuko asabye kkampuni ya Vision Group okwongera amaanyi mu kubunyisa enjiri ku kibiina by'obwegassi ko n'okulwanirira eddembe ly'abantu abaliko obulemu okulabanga nabo baweebwa emirimo egy'obuvunaanyizibwa.

Ku ddyo ye Don Wanyama akulira kkampuni ya Vision Group ng'akwasa Anne Juuko akulira Stanbic Bank engule eyabaweereddwa Vision Group.
By James Magala
Journalists @New Vision

AKULIRA Stanbic Bank Anne Juuko asabye kkampuni ya Vision Group okwongera amaanyi mu kubunyisa enjiri ku kibiina by'obwegassi ko n'okulwanirira eddembe ly'abantu abaliko obulemu okulabanga nabo baweebwa emirimo egy'obuvunaanyizibwa.

Mu kiseera kino Vision Group ekyagenda mu maaso n'okusiima bakasitoma baayo abagiwagidde okumala ebbanga nga wano Don Wanyama agikulira y'akulembeddemu ttiimu eyatwaliddde aba Stanbic Bank engule eyabaweereddwa okubasiima.

Engule eno ekwasiddwa akulira Stanbic Bank, Anne Juuko n'asiima Vision Group olwa pulogulaamu zaayo ez’enjawulo ezikwata ku muntu wa wansi nga wano anokoddeyo omwoleso gw’eby’obulimi ogwa Harvest Money Expo, omwoleso gw’eby’enjigiriza n’ebintu ebirala bingi by'agambye nti biyambye nnyo abantu okukyusa embeera zaabwe.

Juuko agambye nti nga bbanka batadde ssente nnyingi mu kutumbula ebibiina by’obwegassi nga bawola ebibiina ssente ku magoba amatono ddala n’ategeeza nti abantu abatereka mu bibiina by’obwegassi singa bagaziwa n’eby’enfuna by’eggwanga bikula mangu.

Wano Juuko asabye Vision Group okubayambako okubunyisa enjiri n’okwagazisa abantu ebibiina by’obwegasssi ko okwettanira okutereka ensimbi zaabwe mu bank n’ategeeza nti okutereka tekusosola mwavu na mugagga wabula nga kiyamba n’omuntu okukyusa endowooza ye mu nkola y’ebintu.

Okuva ku Kkono ye John Tumwine, Kenneth Agutamba,Anne Juuko akulira Stanbic Bank ng'akutte engule eyabaweededdwa Vision Group,amudiridde ku Ddyo ye Don Wanyama akulira Vision Group,Rodgers Anguzu akulira okunoonya obutale ne Augustine Tamale akulira eby'ensimbi mu Kkampuni ya Vision Group.

Okuva ku Kkono ye John Tumwine, Kenneth Agutamba,Anne Juuko akulira Stanbic Bank ng'akutte engule eyabaweededdwa Vision Group,amudiridde ku Ddyo ye Don Wanyama akulira Vision Group,Rodgers Anguzu akulira okunoonya obutale ne Augustine Tamale akulira eby'ensimbi mu Kkampuni ya Vision Group.

Juuko era ayogedde ne ku nsonga y’abantu abaliko obulemu b’agambye nti nabo bakyetaaga okuyamba ennyo okulabanga nabo baweebwa emirimo egy’obuvunaanyizibwa n’ategeeza nti bo entekateeka eno baagitandikako dda nga baagala okulabanga wakiri ebitundu 10 ku buli 100 baweebwa emirimo mu Stanbic bank n’asaba n’ebitongole ebirala okubegattako mu ntekateeka eno.

Ku nsonga y’abakyala Juuko, ategeezezza nti abakyala abali mu bizinensi beetaaga okuyambibwa ennyo okulabanga bafuna bye bakola nga wano yeebazizza Vision Group olw’okusoosowaza abakyala mu pulogulaamu ez’enjawulo z’ezze ereeta.

Don Wanyama asiimye aba Stanbic Bank olw'obuwagizi bwe bazze bawa Vision Group mu ngeri ez’enjawulo nga wano yeeyamye nti ensonga omuli; okutumbula obwegassi n'okulwanirira eddembe ly'abaliko obulemu byakussibwako omulaka olw’ensonga nti omulamwa omukulu gwa kuyamba Bannayuganda kwekulaakulanya.

Wanyama era ategeezezza nti Vision Group ekyagenda mu maaso n’okutondawo emikutu egy’amawulire egy’enjawulo mu bintu by’eggwanga eby’enjawulo okulaba nti abantu mu bitundu ebyo basomesebwa ku nsonga ezikwata ku by’enkulaakulana mu nnimi zaabwe ennansi ze bategeera obulungi n’asaba aba Stanbic Bank okweyambisa emikutu gino.