ABAKULIRA eby’obulamu mu disitulikiti ya Mityana balaze obwennyamivu ku ddagala lye bafuna eritamala muwendo gwa bantu abali mu kitundu
Amyuka akulira eby’obulamu mu Mityana Joseph Muwanga agamba nti eddagala lye bafuna mu disitulikiti ttono ddala okusinziira ku bungi bwa bantu mu kitundu.
Muwanga agamba nti pulaani ya gavumenti gye batambulirako mu bye ddagala lye bafuna yabagibwa emyaka 13 emabega nga abantu mu ktundu bakyali batono ddala kyokka abantu beyongedde era lye bakyafuna.
Abantu nga bafuna obujjanjabi
“ Entekateeka gyetutambukirako mu by’obujjanjabi , gavumenti yagikola emyaka 13 emabega nga abantu obukadde 34 bebalina okugiganyulwamu .Wabula abantu beyongedde nga bawera obukadde 40 kyokka eddagala ne birala byetufuna tebyakyuka “Muwanga bweyagambye
Muwanga agamba nti omuwendo gwa balwadde bangi nga besomba okuva mu bitundu ebibaliraanye omuli Gomba, Mpigi ,Kasanda ne birala nabayita ku nnyanja Wamala ne beeyiwa mu mwalwaliro gabwe okufuna obujjanjabi nga tebasobola kubagoba .
Yayongerako nti bwe bafuna eddagala babadde basanga obuzibu okulitambuza okulituusa ku malwaliro n’abalwadde nadala mu byalo ebyesudde mu nsozi ne myalo . Wabula agamba nti bafunye obuwerero oluvannyuma lwa minisitule ye by’obulamu okukwatagana ne kitongole kya AMREF ekibayambako ku bye ntambuza ye ddagala n’okuteegeka ensisira mu bitundu ebyenjawulo abatuuze ne basobola okufuna obujjanjabi ku byalo gye babeera .
Omuntu ng'afuna obujjanjabi
Yayongeddeko nti ekitongole kya AMREF kibayambye kinene nti kisasulira abasawo mu byentambula ne basoola okuva ku ddwaliro ne batuka mu bitundu ebyenjawulo abalwadde gye babadde basanga obuzibu okuvaayo naddala mu bitundu bye myalo ne nsozi .
Ate Betty Anzaru nga yavunanyizibwa ku nsonga za baana mu disitulikiti ya Mityana agamba nti obulwadde obusinga okubatawanya mu kitundu gwe musujja gwe nsiri .Agamba nti yadde obulwadde bukyuka okusinzira ku sizooni naye omusujja gwe nsiri gwe gukyasinga okubatawanya kubanga balina ebisalu ku nnyanja Wamala ensiri mwezibiikira nga gyeziva okubatawanya .
Ayongerako nti yadde bafubye okugaba obutimba bwe nsiri mu bitundu ebyenjawulo naye omusujja gukyali gwa mungi nga gulwaza abantu abamu ne bafa . Ekizibu kye balina abamu olufuna obutimba babukolamu ngoye z’abagole , abalala babulundiramu nkoko ate abalala babutwala mu nnimiro ne bakolamu nnansale .Abalala bayingira obutimba ensiri nga zabalumye dda . Ayongerako nti mu kitundu mulimu endwadde endala nga ekidukkano , yinfekiso ne ndala
Fatumah Namusoke nga musawo ku ddwaliro lya Malangala Health Centre III ku Bwesige ggombolola ya Malangala yategeezeza nti balina ekizibu kya bawala abatanetuuka abafuna embuto olw’embeera gye bakuliddemu ey’obwavu . Agamba nti abaana bano bazaala bannabwe kyokka nga babadde ne kizibu ky’okubatukako mu byalo .Agamba bagezaako okubabulirira naddala ku bulwadde bwa mukenenya ne ndala ez’ekikaba
Rebecca Nabatanzi omusawo ku ddwaliro lya Malangala Health Centre III agamba nti babadde n’obuzibu bw’okugema abaana nga abazadde batono abajjumbira . Oluusi abasawo babade bagenda mu byalo ne baddayo nga wayise ebbanga nga bye bagema doozi yakoma mu kkubo neyonooneka . Ayongerako nti ekitundu kyabwe kibadde kisigalidde emabega mu by’okugema abaana kyokka bayambiddwako minisitule ye by’obulamu ngeyita mu AMREF ebasasulira ebyentambula ne basobola okutuka mu byalo na masomero naddala agagavumenti
Ekirala omuwendo gwa basawo mutono ddala okusinzira ku balwadde be bafuna mu ddwaliro . Yagambye nti minisitule yetaaga okwongera ku bungi bwa basawo basobole okukola ku balwadde kubanga beyongera .Ate ne nnyumba mwe basula za kugabaana .
Ate omusumba Jackson Lule nga ye ssentebe we kyalo Nkonya mu Mityana okumpi nnyanja Wamala agamba y’omu ku kubaganyuddwa mu nkola ya minisitule ye by’obulamu bwe bweyegatta ne AMREF kubanga batuletera ensisira mwe bajjanjaba n’okugema abantu abasuka 70 ku kyalo . Kino kiyamby abanu bangi obutatambula ngendo mpanvu .Wabula tusaba gavumenti eyame ku basajja mu byalo ku blwadde bwa KKansa w’obusajja bamukebere ku byalo