Abakoze video ya Tiktok n'ereeta akajagalalo Poliisi ebakutte

Abakoze video ya Tiktok n'ereeta akajagalalo Poliisi ebakutte 

Ababadde balwata video yaTiktok
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Abavubuka ababadde bakola akatambi ka TikTok, basatizza abantu ababadde mu Restraunant e Munyonyo, omu Ku bbo bw'abagiddeyo ejjambiya ereeseewo akajagalalo. 

Poliisi abantu bano ebakutte n'ebaggalira olw'ekikolwa ekyobulabe eri abalabi n'ababadde mu kifo ekyo. 

Kigambibwa nti Ku bano, kubaddeko Omucongo, ne Bannayuganda abalala aba TikTok era nga babadde bagezaako kufuna "content"

Akatambi Kano,  kasaasaanidde emikutu egyenjawulo ng'omu Ku bavubuka agezaako okujjayo ejjambiya ng'alwanira emmere eyabo basanze nga bagiriira mu restaurant. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, avumiridde ebikolwa ebiri mu katambi Kano era n'abaakazannye nabo n'abanenya era nga babakutte