EMBIRANYE ya Iran ne Yisirayiri ssi yaakuggwa kati, omukambwe wa Iran, Ayatollah Ali Hossein Khamenei bw’ayungudde ambega be ‘abaafa’ emitima ne beesogga Yisirayiri okukola miisoni enkambwe ekijja kijje.
Bambega bano beesozze Yisirayiri n’ekigendererwa eky’okutemula abakungu n’okuketta ebifo eby’enkizo munda mu Yisirayiri wabula ekitongole ekikettera munda
mu Yisirayiri ekya Shin Bet nga kiri wamu ne poliisi bakutteko basatu ababadde basensedde mu kitundu Jordan Valley mu West Bank omusingamu Abapalestine
Abalala 2 abaakwatiddwa baasangiddwa nga balina ebiwandiiko by’obutuuze bwa Yisirayiri nga beetuuma n’amannya ag’Ekiyudaaya omu nga ye Yoni Segal n’omulala
yeeyise Nehorai Omri Mizrahi abatuuze b’e Tiberia.
Yisirayiri erimu ku kkubo ly’eyitamu okunafuya abalabe baayo, kwe kukola ebikwekweto mw’ettira abakulembeze b’enjawulo, nga yeesigama ku bukessi obw’ekika ekya waggulu obukulemberwamu ekitongole kya ossad.
Kano ke kazannyo ke kamu Ayatollah k’atandise, ng’ayagala okwesasuliza ku Yisirayiri, olw’abasajja be abakambwe b’ezze etirimbula mu ngeri ey’ejjoogo. Abamu ku
basajja ba Ayatollah, Yisirayiri b’esse mulimu eyal mukulembeze wa Hamas, Ismail
Haniyeh gwe battira e Iran, eyali omuduumizi w’akabinja ka Hezbollah, Hassan Nasrallah, kwossa bannassaayansi n’abaduumizi b’amagye abattiddwa mu lutalo olwakaggwa wakati wa Iran ne Yisirayiri.
Bano era babadde bakuba ebifaananyi by’amalwaliro, ebizimbe omubeera zi ssemadduuka, n’ebifo ebirala okwetooloola eggwanga, nga bwe babisindikira mbega omukulu abituusa ewa Ayatollah butereevu. Bano we baabakwatidde nga baamala dda okusindika zi ssemadduuka, amalwaliro, n’ebikwata ku bifo ebyo omuli amannya, ennamba y’abakuumi ababibeerako, n’enguudo kwe bisangibwa, mu bitundu okuli Haifa, Tiberias, Tel Aviv n’ebirala.
Mu kiseera kino ne mu Iran kifumba mutuku, nga Ayatollah ataamidde
abantu bonna b’ateebereza okubegera Yisirayiri, era buli akwatibwako awanikibwa ku kalabba