AKULIRA offiisi ya ssentebe ya NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo awadde abavubuka b’omu Ghetto y’e Katwe ebintu ebinabayamba okubaggya mu bwavu n'abakuutira okwetandikirawo eby'okukola bave mu bubbi
Ebintu ebigabiddwa
“Abavubuka abasinga bendaba wano muli mu myaka mito nnyo egisaana okukola n’amaanyi wabula abamu mubadde mwekwasa nti temulina ntandikwa nze nnange nga omuzadde oluusi kibadde kinnuma naye ekirungi nsobodde okubeerako kye mbaletera okusobola okukyusa obulamu bwamwe” Namyalo bweyategezezza.
Ebintu ebigabiddwa
Bino Namyalo yabyogeredde mu lukungaana gaggadde lweyakubye ku kasaawe k’e Katwe mu munisipali y’e Makindye leero bwe yabadde atwalidde abavubuka b’omu Ghetto y’e Katwe, abakyala abakolera mu katale k’e Kibuye ne Katwe, bamakanika be Katwe, ba maalaya b’ewa Kiwa ne Fifi e Makindye ebintu eby’enjawulo bye yabawadde okusobola okutandiika okukyusa obulamu bwabwe.
Mu bintu Namyalo byeyabetikidde kubaddeko ttulu box 30, ze yawadde bamakanika, emifaaliso ne bulangiti zaawadde ba maalaya b’ewa Kiwa ne Fifi buli kibinja bulangiti 50 n’e mifaaliso 50, ebyalani 50, ebyuma ebyokya enzigi 50, obuuma obwoza mmotoka, sigiiri ezisiika kyapati ne bigenderako, dulaya z’abakyala ezikola enviiri, obuuma obukuba amatoofali, obusiika emberenge, obukuba eminyebwa, ne kalonda omulala.Mu balala abafunye ku bintu bye nkulaakulana eno mwabaddeko ne bakyala ba baserikale gattako ne bibinja bya bantu ba nnamukisa abafunye bbodaboda empya ttuku okuli abasumba ba balokole abakulembeerwa omutume Benson Buyondo ow’ekibiina kya “Reformed Generation Of Pastors And Preachers Association” [RGPPA] bafunye boda nya.