OMUYIMBI Alien Skin amanyiddwa nga Patrick Mulwana, asimatukidde watono okukubwa bbomu, bw'abadde agezaako okugikwasa abasirikale mu ngalo .
Kidiridde abakozi ba Mulwana abali ku mulimu gw'okuzimba ,okuziikula bbomu eno ey'ekika kya Russian Hand - thrown grenade e Nakinyuguzi mu munisipaali y'e Makindye mu Kampala eggulo ku ssaawa nga mwenda n'ekitundu.
Kigambibwa nti oluvannyuma lw'okulaba bbomu eno, Mulwana akubidde abasirikale abagenze mu kifo ekyo, nti era n'agezaako okugisitula mu ngalo agibakwase, nti kyokka ne bamulagira okugissa wansi mu bwangu.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti ekifo kisaliddwako abasirikale abakugu mu kutegulula bbomu ne bagitegulula nga terina bulabe bw'ekoze.
Akubirizza abantu okubeera abegendereza nga babadde balabye ebintu nga bino, obutapapa kubikwatako nti kuba byabulabe.