OFIISI ekola ku nsonga z’abafu erung’amizza ku ngabana y’emmaali ya Ssegirinya oluvannyuma lw’ebyavudde mu musaayi okuwandula abaana 14 ku bawera 18 abaatwalibwa mu lumbe ne balagibwa abamu ku b’emikwano.
Munnamateeka mu ofi isi eno eya Administrator General ayitibwa Ali Bogere, Bukedde yamutuukiridde eggulo n’alambika ku biteekeddwa okugobererwa nga bagabanya emmaali y’omugenzi Ssegirinya mu baana bana abaakakasiddwa nti ba mu ntumbwe ze.
Bogere yagambye nti nnamwandu amateeka gwe gakkiriza okugabana ku mmaali ya Ssegirinya ateekwa okuba nga yawoowebwa mu bufumbo. Yagambye nti omugenzi bw’aba we yafi ira yali tawooye mukyala yenna oba nga tagattiddwa na mukyala yenna,
tewali akkirizibwa kugabana ku mmaaa mugenzi.
“Omukyala yekka eyagattibwa oba eyawoowebwa mu bufumbo y’agabana ku mmaali ya bba’ Bogere bwe yagambye. Yategeezezza nti amateeka gakkiriza
abaana bokka okugabana ku mmaali ya kitaabwe singa bamaama baabwe kizuuka
nti tebaali bagatte oba bawoowe mu bufumbo.
Mikwano gya Ssegirinya okuli Thomas Bagonza ne Muhammad Luswa Luwemba baategeezezza nti waliwo abamu ku bakyala abaali bawooweddwa kyokka nabo bateekwa okulaga nti ddala baali bakyala ba mpeta.
Bagambye nti emmaali yonna ya baana ba mugenzi era baalabudde aba ffamire abasatu
abaaweereddwa obuyinza ku mmaali y’omugenzi nti ebintu babikwate bulungi kubanga abaana bakyali bato ate bateekwa okusoma.
Ssegirinya yaleka emmaali okuli ettaka e Nakifuma kwe yali akoze faamu y’embuzi yonna eyasaanawo nga mulwadde. Yaleka amayumba agapangisibwa e Namere Kiteezi.
Yaleka amayumba agapangisibwa e Matugga. Yaleka amaka e Kasangati. Yaleka emmotoka okuli n’etambuza abalwadde . Omu ku bannamwandu, Joyce Nalule eyabadde akalambidde yapondoose n’ategeeza nti ababatute ku musaayi baabadde n’ebyabwe byebayisaawo era tabikkiriza. Kyokka eggulo yagambye nti ebyo yabyesonyiyeabavuddeko kubanga yabazudde nti ba mutima mubi era agenda kwerabiririra mwana we.