EKITONGOLE ekisolooza omusolo ekya URA, kirangiridde nga bwe kyasoloozezza ssente ezisoba mu ezo ze baali baalagirwa okusolooza mu misolo, nga kino bakitadde
ku by’enfuna by’eggwanga ebyongedde okukula. Okusinziira ku akulira URA, John Musinguzi Rujoki, mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde 2024/25 baaweebwa ekkatala ery’okusolooza omusolo oguwera obuwumbi 31,369 kyokka omwaka we guggweereddeko nga basoloozezza obuwumbi 31,543 nga bayisizzaamu enjawulo ya buwumbi 174.
Musinguzi era mu kiwandiiko kye yafulumizza yagambye nti omusolo gwe baakung’aanya mu 2024/25, gweyongerako obuwumbi 4,242 bw’ogeraageranya n’omwaka gw’ebyensimbi 2023/24.
Obuwanguzi buno Musinguzi yabutadde ku by’enfuna by’eggwanga ebyongedde okukula n’okuguma, enkola ze baateekawo okutaasa emisolo obutabulankana, n’enkwatagana ennungi gye balina n’abawi b’omusolo abaagaliza eggwanga lyabwe okukulaakulana.
Ebibalo Musinguzi bye yafulumizza biraga nti omusolo ogusoloozebwa munda mu ggwanga, baakung’aanyaamu obuwumbi 21,242, wadde nga gavumenti yali
yabawa ekkatala lya kusolooza obuwumbi 21,119, ekiraga nti baasussa mu ezo ezaali zibaweereddwa okusolooza.
Ate mu misolo egiwoozebwa ku by’obusuubuzi n’amawanga amalala, baakung’aanya obuwumbi 11,105, ne bayisa ekkatala ery’obuwumbi 11,054 eryali libaweereddwa. Kati mu mwaka gw’ebyensimbi 2025/26 ogwatandise, Musinguzi yagambye nti baabawadde
ekkatala lya kusolooza obuwumbi 36,740, era bagenda kusobola okulituukiriza, nga bayita mu kuteekawo enkola eziyamba URA okusolooza omusolo ku buli muntu ateekeddwa okugusasula, okwongera ku muwendo gw’abakozi okusobola okutambuza
emirimu ku sipiidi, okukunga abawi b’omusolo n’okubasomesa,
okuteeka amaanyi mu nkola ya EFRIS, okubangula abakozi, n’okwongera amaanyi ku nsalo awayita ebyamaguzi okulaba nga tewabaawo bakukusa magendo, n’ebirala.