KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akoze omulimu munene mu kutumbula obutonde
bw’ensi ye okulaba ng’ensi eddamu okubeera eya kiragala nga bwe yabeeranga.
Obutonde bwa Buganda obulungi bwaleetera Abazungu abaaleeta kuno eddiini ate
n’oluvannyuma abaabeera mu Gavumenti enkuumi okugyesiimira n’okwagala okugibeeramu okukkakkana nga Sir Winston Churchill, agituumye ‘Ekkula lya Afrika’.
Kabaka Mutebi II mu kulambula Obuganda, yajja n’enkol ’okusimba emiti ku buli mukolo gw’abeerako n’ekigendererwa ky’okutumbula obutonde obuzze bukosebwa enkulaakulana ezze.
Emyaka esatu egiyise gavumenti ya Kabaka yateekawo enkola eyitibwa ‘Ekibira kya Kabaka’. Amasaza okuli; Busujju ne Mawokota gaamaliriza okusimba ekibira kya Kabaka.
“Ate mu Masaza amalala enteekateeka eno egenda kubunyisibwa okulaba nga tutaasa
obutonde bw’ensi yaffe,” Teddy Nabakooza Galiwango, omukwanaganya w’obutonde bw’ensi mu Buganda bwe yayogera ku nteekateeka eno gye buvuddeko.
Obutonde bw’ensi bugenze buggwaawo olw’abantu okutema emiti okufuna kye bafumbisa, ekivuddeko enkyukakyuka y’embeera y’obudde.
Kino Obwakabaka olwakirabye, kwe kuleeta pulogulaamu eyatuumwa Kyusa Enfumba Yo’. Eno egendereddwaamu okulwanyisa endwadde eziva ku kufumbira ku
nku, okutema ebibira okufuna enku n’ebirala.Enteekateeka eno ekoleddwa n’aboomukago bangi okuli ne minisitule ya gavumenti eya
wakati evunaanyizibwa ku by’amasannyalaze, NationalRenewable Platform, Uganda National Clean Cooking Alliance.
Ebimu ku bikoleddwa kwe kugaba ebyeyambisibwa mu kufumba nga, ‘Bio Gas’, amasannyalaze g’enjuba, amasigiri agakekkereza n’ebirala. Mu pulogulaamu ya ‘Kyusa Enfumba Yo’, Ssaabasajja alwanyisa endwadde eziva ku kufumbira ku nku n’okutema ebibira okufuna enku. Okugaba Bio-gas ne soola, amasigiri agakekkereza. Ebyoto bya Bio-gas ebiwera 218 bye bizimbiddwa okwetooloola Buganda.
Amazzi amayonjo agamalakye kimu ku bintu ebiri mu nteekateeka eno. Obwakabaka
bukolaganye ne Bannamukago abawerako okuli; Wells of Life okusima nnayikonto n’okuziddaabiriza, enzizi, okugaba ttanka z’amazzi n’ebirala.
“Okusomesa abantu (emisomo egy’enjawulo) ku butonde bw’ensi, empewo ennyonjo, okwawula kasasiro, okukozesa n’okutunda Bio-gas, n’amasannyalaze g’enjuba,”
Nabakooza bwe yategeeza gye buvuddeko.
Obwakabaka era bwatandika enteekateeka eyitibwa ‘Akacupa nazo ssente’ n’ekiruubirirwa ky’okuwa abavubuka emirimu. Mu nteekateeka eno buli kacupa, omuvubuka k’alonda, afunamu ssente, nga byonna bikolebwa okutaasa obutonde.
Mu kutumbula obutonde bw’ensi, Obwakabaka butaddemu
n’okulwanirira amateeka amaluηηamu okuleetebwa abali muGavumenti okutaasa butonde bw’ensi.
SSAABASAJJA YANNYAMBA KATI NFUMBISA GGAASI- LUKYAMUZI
Hussein Lukyamuzi ow’e Kyamula Salama mu Ssaza ly’e Kyadondo y’omu ku baganyuddwa mu nteekateeka z’Obwakabaka ne bannamukago baabwo okuli Eco Save okutumbula obutonde bw’ensi okuyita mu kubunyisa ‘Bio-gas’.
Ono omu ku baafuna ekibuto ggaasi mw’ava okugenda mu masiga okutandika okufumba. “Mmaze emyaka esatu nga nkozesa (Digester) okufumbisa ggaasi. Okwenyumiriza kwe nnina nti, nsobola okukozesa kalimbwe ate ne nfunamu ggaasi
afumba. Kyandibadde kirungi gavumenti eya wakati okuvaayo n’ewa abantu ebibuto bino basobole okukozesa kalimbwe, n’obusa bikozesebwe okuvaamu ggaasi anaayamba okutaasa obutonde kubanga ku ffaamu nnyingi, emiti gitemebwa okukola ogw’okufumba”, Lukyamuzi bw’agamba.