PULEZIDENTI Museveni akyazizza abakungu b’ekibiina ekifuga omuzannyo gwa rugby mu nsi yonna n’asiima nti gwongedde okugatta abantu n’okubakulaakulanya.
Baamutwalidde ekikopo kya rugby eky’ensi yonna ne bamwebaza okubeera omukulembeze ayagala emizannyo nti ye nsonga lwaki Uganda eweebwa okutegeka empaka ez’amaanyi mu mizannyo egy’enjawulo.
Baamusanze mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero nga baakulembeddwa akulira ekibiina kya rugby mu Afrika, Munnaghana Herbert Mensah.
Leero, empaka za Afrika eza rugby lwe ziggulwawo mu Uganda nga zeetaabiddwaamu amawanga munaana (8). Omuwanguzi waakuyitamu butereevu okuzannya World Cup y’e Bungereza wakati wa August 22 ne 27 sso nga owookubiri ajja kuzannya n’erimu ku mawanga ga Asia ng’omuwanguzi naye alizannya World Cup.
Museveni yagambye nti emizannyo kikulu nnyo mu nsi kuba gigatta abantu, gibongera obulamu kuba giziyiza endwadde mu mibiri gyabwe ate era gigaggawaza kuba
gifuuse bizinensi eri abagizannya n’ababakulembera. “Mwebale kujja mu Uganda era mbakakasa nti tugenda kwongera okuyamba rugby.
Okuleeta ekikopo kya World Cup kabonero akalaga nti naffe tulina omulimu munene gwe tukola,” bwe yategeezezza n'asuubiza okwongera okuzimba ebisaawe rugby
n'emizannyo emirala gisaasaane