Namwandu wa Seggirinya agaanidde mu nju

OMU ku bannamwandu ba Ssegirinya agaanidde mu maka amakulu ag’omugenzi aba ffamire ge baamulagidde okwamuka oluvannyuma lw’ebyavudde mu kukeberaendagabutonde okulaga nti abaana be tekuli wa mugenzi.

Namwandu wa Seggirinya agaanidde mu nju
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMU ku bannamwandu ba Ssegirinya agaanidde mu maka amakulu ag’omugenzi aba ffamire ge baamulagidde okwamuka oluvannyuma lw’ebyavudde mu kukebera
endagabutonde okulaga nti abaana be tekuli wa mugenzi.
Twahirah Akandinda yategeezezza Bukedde nti ebyavudde mu kukebera DNA abiwakanya era ensonga yazikwasizza looya we n’akalambira nti si waakuva mu nju wadde okuwaayo ekintu kyonna.
Okwogera bino, Akandinda yabadde atuukiriddwa ku byogerwa kojja w’omugenzi Ssegirinya, Omulangira Robert Walugembe Mawanda ow’e Kanyanya mu Kawempe eyamulumiriza ku kutunda ebimu ku bintu by’omugenzi omuli n’embuzi ezaali ku Ffaamu e Nakifuma.
Wabula Akandinda yagambye  nti abamulumiza okubba embuzi z’omugenzi beenoonyeza byabwe kuba tebalina bujulizi n’agattako nti n’abamugoba mu nju tebalina buyinza bumugobamu era waakuba mu ju okutuusa g’omwana we afunye obwenkanya kuba DNA yalimu emivuyo. Mawanda aleeta ekiteeso eky’okutwala abaana bonna ku
DNA kubanga yakizuula ng’abakazi baali baagala okuliira mu kavuyo.
Abamu ku baana Ndawula be yagambye nti abamanyi kuliko; Ivan Bukenya, Aliya Nagirinya, Hirfra Nagirinya, Shadia Nagirinya, Sharifa Nagirinya bano abamugambanga nti ba ntumbwe ye awatali kubuusaabuusa ng’era ekirungi eby’omusaayi byagenze okudda baayiseemu.
Yagambye nti omugenzi ng’akyali mulamu yayagala okutunda e Nammere ne mu
Kalagi ng’agamba nti aba ffamire ye baali bajja kuleeta emivuyo ng’era kino kyakakasibwa ng’omugenzi yaakamala wiiki bbiri mu ttaka namwandu Akandinda, Nnalongo Joyce Nalule ne Maama w’omugenzi n’aba ffamire abalala baamusalako ne bamusaba nti baagala kutunda mmotoka y’omugenzi TX nnamba UAU 068T. Yagasseeko nti ekyasinga okumwewuunyisa Akandinda yaleeta omuguzi eyagamba obukadde 7 ate Nalongo Joyce Nalule gwe yaleeta n’agigula obukadde 11 olw’okuba baali bakambwe gyali kasita yabawa kaadi y’emmotoka ebyaddako yabiwuliza buwulizi.