Ali Mwebe afunye omulimu mu FIFA N'ayabulira FUFA

MUNNAYUGANDA Ali Mwebe agudde mu bintu. Yalondeddwa okukola n’eyaliko omutendesi wa Arsenal, Arsene Wenger kati akulira enkulaakulana y’omupiiramu FIFA.

Ali Mwebe
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MUNNAYUGANDA Ali Mwebe agudde mu bintu. Yalondeddwa okukola n’eyaliko omutendesi wa Arsenal, Arsene Wenger kati akulira enkulaakulana y’omupiira
mu FIFA.
Mwebe nga kati ali mu kibuga Zurich ekya Switzerland awali  ekitebe kya FIFA ekikulu mu nsi yonna, yalondeddwa okukola mu kitongole kya Global Football Development ekivunaanyizibwa okukulaakulanya omupiira mu nsi yonna. Ekitongole kino kikulirwa
Wenger era nga Mwebe yagenda okukwanaganaya emirimu mu Afrika. Yafuuse Munnayuganda asoose okufuna ekifo kino. Y’abadde akulira enkulaakulana y’omupiira mu FUFA era, pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo, bwe yabadde amwogerako yagambye nti “Mwebe mukozi nnyo”. Yabyogeredde mu ttabamiruka wa FUFA eyatudde ku Hoima Resort Hotel ku Lwomukaaga.

Mwebe yategeezezza nti “Kati nkola ne ne Arsene Wenger era ng’enda mu lukiiko kati. “Emirimu gyonna emirala bagenda kugimbuulira era ndi mwetegefu okugikola obulungi. Wiiki ejja ng’enda kutegeera n’okwogera obuvunaanyizbwa bwe bampadde okukola naye kati nkyali mu misomo egy’enjawulo okwongera okukuguka mu bye ng’endako,” Mwebe bwe yategeezezza eggulo. FIFA erina ofiisi 10 mu nsi yonna (FIFA Regional Development Offices) nga zino ziyamba mu kugatta bammemba n’okutuukiriza ebigendererwa byayo. Mu Afrika, ofisi za FIFA ziri mu mawanga 2 okuli Senegal mu kibuga Dakar ne Kigali ekya Rwanda.
Mwebe yakulirako emirimu mu URA (CEO) ssaako n’okukulira ebyekikugu mu FUFA  ’okukola mu kitongole ekitegeka empaka za FUFA.
ONYANGO YEEGASSE KU CRANES
Eyaliko kapiteeni wa Cranes, Denis Onyango eggulo yatandis kutendeka abakwasi ba ttiimu eno eyeetegekera okwetabamu mpaka za CHAN. Onyango ng’azannyira
Mamelodi Sundowns eya South Afrika, yagambye nti yakkaanyiza ne FUFA okuyamba ku baggoolokipa mu kaseera k’agenda okumala mu luwummula. FUFA yagambye
ntiOnyango alina obukugu obumala okuyamba ku baggoolokipa bano era balina essuubi nti omulimu gwe gugenda kuvaamu ebibala. Steven ‘Billy’- Kiggundu y’omu ku batendeka abakwasi baggoolo ku ttiimu eno. Empaka za CHAN zitandika August 2  kutuusa August 30 mu mawanga 3 okuli Uganda, Kenya ne Tanzania, Uganda eri mu kibinja C ne Algeria, South Afrika, Niger ne Guinea nga batwalako ttiimu 2 okugenda ku quarter. Uganda eggulawo ne Algeria mu kisaawe e Namboole nga August
4. Eggulo Cranes yayingidde enkambi e Kisaasi