NNAMULONDO ye ntebe Kabaka mw’atuula buli lw’alabikako eri Obuganda, era abantu be bwe baba bamulindirira, bwe bagirabako nga bamanya nti, Empologoma essaawa yonna etuuka.
Kyokka oyinza okwebuuza nti, entebe eno yatandika ddi okuyitibwa Nnamulondo?
Wattu erinnya lino lyava dda anti lyatandikira ku mulembe gwa Ssekabaka Mulondo.
Okusinziira ku mumyuka wa Katikkiro w’Ekika ky’Envuma, Lawrence
Lugoloobi, Ssekabaka Mulondo ye Kabaka wa Bugandaowoomwenda era yafuga Obuganda wakati w’omwaka gwa 1555 okutuuka mu mwaka gwa 1564 ng’adda
mu bigere bya kitaawe Ssekabaka Nakibinge.
Kyokka Ssekabaka Mulondo yafuuka Kabaka nga muto ddala era ng’akyatuula ku mubiri. Buli lwe waabangayo olukiiko, nga nnyina Nnamulondo Owoobutiko alera
mulele. Abantu bwe beemulugunya nti, Kabaka tebamulaba bulungi, Bakojja be Aboobutiko ne bamubajjira entebe abantu be basobole okumulengera era ne bagituuma erinnya lya nnyina Nnamulondo olw’okuba nti, entebe eno yali ‘emulera’ okufaananako
nnyina.
Okuva olwo, Nnamulondo n’efuuka entebe ya Kabaka entongole mw’alamulira Obuganda kyokka nga Nnamulondo eyasooka yali ntonotono ng’esobola okugyamu omwana ate nga ya magulu asatu. Era mu kaweefube w’okusanyuka Kabaka Mulondo eyali omuto, bakkojja be Aboobutiko baayiiya era ne batandika okumuzinira amazina amaggunju asobole okusanyuka n’okuseka nga gano gakyazinibwa ne leero. Mu kitabo kya S. Kasirye, ekimanyiddwa nga ‘Abateregga ku Nnamulondo ya Buganda’, yagamba
nti, abantu baanyumirwanga nnyo amazina amaggunju nga baagala nnyob okugalaba.
Agamba nti, lumu mu bajja okulaba amazina gano, mwalimu omusajja
eyali akutte effumu lya Ssekabaka Nakibinge eryali liyitibwa Kawawulo.
Nti, ono yali yalironda bwe yali agenze ku ttale okuyigga. Ono yakulemberamu basajja ba Kabaka Mulondo n’abatuusa mu kifo we yalironda.
Bwe baayerula ettaka, ne basangayo amagumba ga Ssebakaba Nakibinge.
Baakakasa nti, ye ye olw’effumu eryali lyalondebwawo, ate nga ne Ssekabaka Nakibinge yalina omuzigo mu kamwa nga bwe beekenneenya amagumba ge ne bakakasiza ddala. Y’ensonga lwaki alina Amasiro ate ng’eggulo twakulaze nti, Ssekabaka Nakibinge yali yabulako effi ire.
YALANGIRIRA ABASAJJA OKUDDUKA OBUKO
Era J.S Kasirye agamba nti, Ssekabaka Mulondo lumu yali ava okuyigga, n’asisinkana omukadde omukazi amuzaalira omu ku bakyala be ng’ali mu mulyango gw’ennyumba. Omukyala ono yali mubalagavu era nga y’oli gwe bagamba nti, mulungi kaalaala!
Ekituufu Ssekabaka Mulondo yeegomba omukadde oyo, kyokka bwe yalowoozaamu ku bulabe obuyinza okujjira Obuganda singa aba amwagadde, n’amwesonyirira ddala.
Okuva olwo, n’ayisa etteeka nti, buli musajja alina okuddukanga mukadde omukazi amuzaalira omukyala si kulwa ng’amulaba n’amwegomba okukkakkana ng’akoze ensobi. Enkola eyo ne mu biseera bino ekyagobererwa mu Buganda.