EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB kifulumizza ennaku abayizi ba P.7, S.4 ne S.6 kwe bagenda okutuulira ebibuuzo by’akamalirizo.
Akulira UNEB, Dan Odongo yasinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku Media Centre eggulo n’ategeeza nti ebigezo bya PLE ebya P.7 bijja kutandika n’okubuulirira abayizi ku Lwokutaano nga October 31, ate ebigezo byennyini babituule
ku Mmande nga November 3 n’enkeera ku Lwokubiri nga November 4, 2025.
Abayizi ba S.4 bajja kukola ebibuuzo bya UCE nga batandika n’okubuulirirwa ku Lwokutaano nga October 10, 2025 babikole okutuusa nga November 7, 2025.
Ate abayizi ba S.6 abakola UACE bajja kutandika n’okubuulirirwa nga November 7, 2025 olwo babikole okutuuka nga December 5, 2025. Abayizi abalina obulemu bw’obutalaba n’abatawulira, Odongo agamba bamaze okukola entegeka z’okubaweereza
bye baneeyambisa mu kuddamuM ebibuuzo.
Guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri ng’ekitongole kya UNEB kitegeka ebibuuzo bya S.4 nga basinziira ku nsomesa eyeesigamye ku busobozi bw’omuyiziM eya Competency Based Curriculum. Odongo yasabye abakulira amasomero okufuna olukangaga lw’ennaku z’okukolerako ebigezo okuva ku
‘portal’ z’amasomero. UNEB egamba yafulumizza n’empapula okuli ‘time table’ mu bungi ezigenda okuweebwa abayizi abagenda okutuula ebigezo basobole okwetegeka obulungi.
Baasabye ‘time table’ zitimbibwe ku masomero buli muntu w’azirabira amangu