TAATA agenze ku muzigo okukyalira mutabani we n'akolerayo eby'awongo ebikitabudde abatuuze ne babimusimuzaayo , nnanyini nju n'abagoba
Nagibu Kubula yatunudde ebikalu ng’akakiiko ka LC n’abatuuze bamulagira okusimulayo ebyawongo bye yaziika mu mulyango gw’omuzigo mutabani we Wagihu Muwereezza 22 wapangisa mu Dobi zooni mu muluka gwa makerere III e kawempe , Kubula yavudde Iganga okujja e Kampala okukyalira abaana be wabula kigambibwa bwe yatuuse ne basala e Mbuzi ne babaako eddagala lye baakoze ne baligata n’amagumba ge Mbuzi ne babiziika mu mulyango.
Bino baabikola ku Sande wabula Mande Muwereezza n’atabuka omutwe nga wano bwiino we yaviriddeyo ekyawalirizza omulangira Livingstone nnanyini mayumba okwekubira enduulu ku LC eyasobodde okukwata Muwereezza eyabadde atandiise okukuba abatuuze , wabula Kubula bwe baagenze okwogera naye neyesibira mu nju .
Abantu bakung'aanye okulaba eby'awongo
Kubula yagambye nti kituufu embuzi yasaliddwa naye baabadde bakola mikolo gya famire kuba abaana be baludde batawanyizibwa ebya Famire ebyawongo yabisimuddeyo nabiteeka mu kaveera ne yemulula nagenda .
Omulangira Livingstone Simbwa nnanyini mayumba yagambye nti Kubula babadde tebamumaanyi kuba mutabani we Muwereezza ye yapangisa enju nga buli mwezi abadde asasula 150,000/ nga talina buzibu ku kyalo ng’obuzibu bwavudde ki kitaawe ku mukyalira nakola byawongo ng’ekyasinze okumwewunyisa Kulaba yagambye nti Poloti okuli amayumba gaali ga taata we mu myaka 60 wano we baategeredde nti ono yabadde n’ekigendererwa ky’okuwamba amayumba agatali gage ng’akozesa edogo.
Paul Mukwaya ssentebe Dobi zooni agamba nti ng’akiiko kabaadde kalina okusitukiramu okutaasa ekyalo kuba ebyawongo kasita byakutte omwana ekyabaadde kiddako kudda mu batuuze n’asaba abatuuze buli omu okuba mbega wa munne
Muwereezza eyabadde atabuse omutwe bwe yazze engulu yalabise ng’atabuddwa nategeezza nti bbo ng’abaana basobeddwa kuba taata abalaga ye mutuufu ne maama alaga ye mutuufu ng’eky’okukola tebakimaanyi wabula yadde kitaawe yabadde amuyita bagenda bombi yaganye .
Zaina Ndyowe 45 eyali mukyala we Kubula gwe yazaalamu abaana basatu ng’alina woteeri e makerere Kavule e kawempe yagambye nti yamala ne Kubula emyaka 6 ne bazaala abaana basatu okuli Bushira Naigaga 23 , Wagihu Muwereezza 22 eyabadde agudde eddalu , Ddiini Mukuyu 27 ng’ono yagaana okukwatagana n’ekitaawe olwe bikolwa eby’ekirogo namuzalukuka. Yagambye baayawukana ne Kubula 2002 ng’entabwe era yali ya bikolwa ya kalogo kalenzi.