ABATUUZE ku kyalo kye Nakasozi ekisangibwa e Buddo mu Town Council ye Kyengera bawanjagidde ekitongole ky’eyenguudo ekya UNRA okwongera okubateera obugulumu mu luguudo lwabwe lwebagamba nti lususse okubeerako obubenje.
Kiddiridde omuvuzi wa boda eyabadde attise amayilungi ng’avuga sipiidi okutomera eyali omumyuka w’essomero lya Budo junior School n’amutta.
Abakungubazi nga bateeka ekimnuli ku kkeesi y'omugenzi
Hanington Kiwanuka,ng’ono abadde atemera mu myaka 81 nga abadde musomesa omutendeke ye yatomeddwa boda bweyabadde asala oluguudo okubaako by’agula ku dduuka era yadde ng’abatuuze baasobodde okumuddusa mu ddwaaliro naye teyasobodde kudda ngulu.
Omukolo gw’omuziika gutandiise na kusaba era ng’omusumba w’e Nsangi Kisaakye Ntale Ssaalongo y’akukulembedde n’asaba abavuzi b’ebidduka okweddako nga bavugisa ekimama nti kuba bateeka obulamu bw’abantu mu mattigga.
Omu ku batuuze,Joseph Lubega yategeezezza nti oluguudo luno naddala mu katundu k’oku matutu okutuuka ku kye Buddo obubenje bugwaawo nnyo bw’atyo n’asaba wabeewo ekikolebwa kuba lususse okuteeka obulamu bwaabwe mu mattigga.
Scovia Namutebi,naye nga mutuuze tategeezezza nti ekisinga okubeeralikiriza kwekuba nti abaana baabwe bangi abalutambuulirako nga bava ku masomero nti wabula abavuzi ba boda ne mmotoka bavugirako sipiidi y’amaanyi bw’atyo n’asaba bongeremu obugulumu basobole okufuna ku buweerero.
Medard Seggona naye yabaddewo mu kukungubaga
Omubaka wa Busiro East,Medard Lubega Seggona asinzidde mu kuziika omugenzi Kiwanuka n’ategeeza nga bweyalajaanira abaakola oluguudo luno okubwongeramu obugulumu bwebaali tebannalujjako ngalo nti wabula naye kyamubuukako okulaba nga omulanga gwe tegwayanukulwa.
Seggona yatenderezza Kiwanuka nga bw’abadde omuntu ow’enjawulo ennyo naddala mu kkanisa mwebabadde bonna mu kitongole kya Father’s Union gw’agambye nti bagenda kusubwa nnyo obuwereeza bwe.
‘’Buli kaseera bwenfuna omukisa okwogera ntera okubagamba okukuuma omutindo ku buli kintu oba byabufuzi oba byanfuna n’olwenkyo omugenzi ono akituukirizza bulungi kuba ne mukiseera bweyabeerera omusomesa ng’akola byannaggwano byokka’’Seggona bweyategeezezza.
Sentebe w’ekitundu kino,Kaluna Ssemwanga,yasabye abakulembeze ku Town Council ye Kyengera okwongera okubagaziyiza ne kumakubo agayingira mu byalo nti oba olyaawo nakyo kiyinza okukendeeza ku bubenje ku luguudo luno.