PREMIUM
Amawulire

Uganda yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku ly'ebisodde (Gorillas)

UGANDA yeegasse ku nsi yonna okujaguza olunaku lw'ebisodde (gorillas) era nga  ebijaguzo ebikulu bibadde Ruhija mu disitulikiti y'e Kanungu awasangibwa ekkuumiro lye bisolo by'omunsiko erimanyiddwa nga Bwindi impenetrable National Park. 

Abalambuzi nga bali mu kifaananyi eky'awamu
By: Godfrey Ssempijja, Journalists @New Vision

UGANDA yeegasse ku nsi yonna okujaguza olunaku lw'ebisodde (gorillas) era nga  ebijaguzo ebikulu bibadde Ruhija mu disitulikiti y'e Kanungu awasangibwa ekkuumiro lye bisolo by'omunsiko erimanyiddwa nga Bwindi impenetrable National Park. 

Abamu ku balambuzi nga balaba amazike mu Kkuumiro lya Bwindi  e Kanungu.

Abamu ku balambuzi nga balaba amazike mu Kkuumiro lya Bwindi e Kanungu.

Okujaguza kuno kukulembeddwamu abatuuze okuva mu bitundu ebiriraanye ekkuumiro lino nga beegattira mu kibiina kyabwe ekimanyiddwa nga Change A Life- Bwindi.  Christina Katushabe ku lw'abatuuze, ategeezezza nti okujaguza kw'omwaka guno kutambulidde ku mulamwa ogw'okukuuma obutonde bw'ensi naddala okumalawo okusaasanya ebintu bya plastic, okuliraana ekkuumiro lino.

Mu ngeri eyo, bano baasoose na kuyonja bitundu mwebawangaalira. Nga bakwasaganyizibwako ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma ebisolo by'omunsiko ekya Uganda Wildlife Authority (UWA), balambudde ebimu ku bisodde ebisangibwa mu kkuumiro lino.

Abazinyi nga absanyusa abalambuzi

Abazinyi nga absanyusa abalambuzi

Dr. James Musinguzi akulira UWA ategezeeza nti luno olunaku lukulu olulina okujaguzibwa kubanga kiyamba okujjukira ebirina okukolebwa okulaba nga bakuuma ebifo ebisodde bino webisula okuli ebibira era n'akubiriza abantu osimba ebibira kubanga ebisolo bino bireeta ensimbi nyingi okuva mubalambuzi nga ebitundu 70 ku sente zebyobulambuzi biva mu bisodde.

Asembyeyo ng'akubira gavumenti omulanga okukola enguudo okuli ezitwala abalambuzi mu makuumiro g'ebisodde okuli Bwindi ne Mgahinga.

Abalambuzi nga bakola ebintu eby'enjawulo

Abalambuzi nga bakola ebintu eby'enjawulo

Akulira Uganda Tourism Board (UTB) Juliana Kagwa agambye nti olunaku luno lukulu nnyo kubanga Uganda y'esinga okubeera n'obungi bw'ebisodde mu nsi yonna. Ono ayongeddeko nti ekitongole ky'akulira ekya UTB, kigenda kwongera okusikiriza abalambuzi okwettanira okujja mu Uganda balambule ebisodde n'ensolo endala ez'omunsiko.

Tags: