Frank Bulira Kabinga gwe basembyeyo okuwandiika asuubizza okuzzaawo enfuga ya Federo.
Agambye nti ye ng'eyali omuyambi wa Dr Aggrey Kiyingi akkiriza nti enfuga ya Federo yokka y'esobola okubbulula eggwanga buli kitundu kisobole okukulaakulana.
Yagambye nti enkola ya Federo yeesobozesezza amawanga nga United Arab Emirates okukulaakulana.
Akakiiko kaategeezezza nti kampeyini z'obwapulezidenti zitandika mu butongole nga September 29,2025