Uganda ewangudde emidaali mu mpaka z’amasomo ga siniya mu Bungereza

Uganda ewangudde emidaali mu mpakaz’amasomo ga siniya mu Bungereza

Amara Hallelujah (ku kkono), Mary Louise Bamurumba ne Gabriel Yiga abayizi abaafunye emidaali.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Uganda ewangudde emidaali esatu omuli n’ogwa zaabu mmpaka z’ebisomesebwa mu masomo  ga siniya.
Empaka zino eza buli mwaka ezimanyiddwa nga International Greenwich Olympiad (IGO) zitegekerwa mu Bungereza ku nteekateeka y’ekitongole ky’ensi yonna eky’enkulaakulana ekya United Nations Sustainable Development Goals (SDGs) nga
zeetabwamu abayizi abali wakati w’emyaka 12 ku 18.
Mu mpaka zino ezaakomekkerezeddwa wiiki ewedde Uganda yakiikiriddwa essomero lya Friends International Christian Academy e Kyanja nga lyasindise abayizi basatu. Andrew Yiga, omusomesa mu ssomero lino eyakulembeddemu abayizi okuva mu Uganda yagambye zeetabiddwaamu amasomero agasukka 220 okuva mu mawanga ag’enjawulo mu nsi yonna ng’omugatte gw’abayizi baabadde 500.
Abayizi okuli Amara Hallelujah Atukunda ne Gabriel Yiga baawangudde omudaali gw’ekikomo ate ye Leona Marylouise Bamurumba yawangudde ogwa zaabu.
Ebigendererwa by’empaka zino kwe kwongera okuzimba obwongo bw’abayizi n’enkola
ey’enjawulo gye balabamu ebintu