PULEZIDENTI Museveni awabudde Bannabyanjigiriza okufaayo okulung’amya abayizi ku koosi ez’ettunzi mu yunivasite ez’enjawulo kiyambeko okukendeeza ku bbula ly’emirimu nga bamaze okutikkirwa.
Bino byabadde mu bubaka bwe yatisse minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebya waggulu, Dr. JC Muyingo ku mukolo gw’amatikkira ag’omulundi ogwokutaano aga yunivasite ya Islamic Call ku kitebe kya UMSC ku Old Kampala.
Yagambye nti amasomo ga ssaayansi ne Tekinologiya gasaanye okussibwako essira kubanga ga nkizo nnyo olw’okulwanyisa ebbula ly’emirimu n’awa ekyokulabirako ky’abasawo abalina akatale mu ggwanga n’ebweru ate nga bakyali batono.
Abayizi 250 be baafunye amabaluwa ag’enjawulo okuli; diguli, dipulooma ne satifikeeti
mu masomo okuli; obusomesa, okubala ebitabo, Sharia, Kulaani, ebyamawulire, obukulembeze n’amasomo amalala.
Pulezidenti yasiimye Mufti Shaban Mubajje olw’okutumbula ebyenjigiriza n’okulyowa emwoyo.
Yasabye abatikkiddwa okuyambako Gavumenti okutandikawo emirimu basobole okukyusa obulamu bwabwe n’okuwa abalala emirimu.
Pulezidenti era yasabye abaatikiddwa okumulonda mu 2026 nga basinziira ku ebyo by’akoledde eggwanga. “Mwekuume muleme kwejaajaamya nga mwenyigira mu bwenzi kuba mukenenya akyaliwo era atta era mukole duyiro emibiri gisobole okubeera emiramu obulungi,” bwe yategeezezza mu bubaka.
Mufti Mubajje era nga ye Cansala wa yunivasite yagambye nti ettendekero lyabwe
lisajjakudde nga bagguddewo n’amatabi amalala e Kiyunga mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono gye balina iika 32. Ekiseera kyonna bagenda
kuzimbayo ebizimbe nga bayambibwako Gavumenti ya Kuwait era essaawa yonna bagenda kufuna Charter. Akulira yunivasite, Dr. Edris Sserwadda yagambye nti baweza
abayizi abasoba mu 800 kyokka n’asaba Gavumenti okubongeraobuwagizi okufuna Chater ky’agamba nti kigenda kwongera okusitula embeera z’abantu naddala
ku kyalo Kiyunga gye bagguddewo ettabi eddala. Yakunze Abasiraamu okwettaniraokusoma n’agamba nti mu ssemateeka omupya batandikidde ku mufti okubeera ng’alina diguli bbiri mu masomo g’eddiini n’ebyensi nga gye bujja buli kifo ky’obukulembeze mu Busiraamu kijja kuteekebwako obuyigirize obw’essalira. Mu baatikkiddwa kwabaddeko ne Haji Badru Kitaka Kavulu, amyuka ssentebe = w’Obusiraamu mu disitulikiti y’e Mukono eyafunye satifikeeti mu nzirukanya y’emirimu.