Omumuli gwa Commonwealth gufuukudde ab'e Kapchorwa

Omumuli gwa Commonwealth gufuukudde ab'e Kapchorwa

Victor Kiplangat (owookusatu ku kkono mu maaso) ng'akutte 'King's Barton Relay' okugyetoolooza Kapchorwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

DISITULIKITI y'e Kapchorwa yabugumye ku Lwokutaano ng'abaddusi baayo ab'amannya baddusa omumuli ogutongoza emizannyo gy'amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza (Commonwealth Games).
Ekibiina ekiddukanya emisinde mu ggwanga nga kiri wamu ne Uganda
Olympics Committee (UOC) be baatutte omumuli guno oguyitibwa
'King's Barton Relay e Kapchorwa, awava abaddusi ab'amanya okuli Moses Kipsiro, Joshua Cheptegei, Jacob Kiplimo, Peruth Chemutai, Victor Kiplangat, Stephen Kiprotich
n'abalala.  Kiplangat, kyampiyoni wa Marathon mu mizannyo gya Commonwealth  ye yakwasiddwa omumuli ng'ali wamu n'omutendesi wa ttiimu y'eggwanga, Benjamin Njia nga bawerekerwako abaddusi abalala kwetooloola Kapchorwa. Gwatwaliddwako ne ku Sebei College, erimu ku gasinga okuvaamu abaddusi ab'amannya, abayizi ne bafuna omukisa okugukwatako.
Njia yagambye nti omumuli gwongedde okwagazisa abato emisinde.  Olwavudde eyo ne
gutwalirwa Pulezidenti Museveni e Nakasero.