Minisita atongozza lipoota ku mbeera y’abantu abalina obukugu

Minisita w’ebyenjigiriza, Janet Museveni atongozza lipoota  y’okwekenneenya embeeray’abantu abalina obukugu obusobola okukola mu ggwanga. Okunoonyereza kuno kwakolebwa gavumenti ya Uganda wamu  ne bbanka y’ensi yonna, (World Bank). Omukolo guno gwabadde mu maka g’obwapulezidenti e Nakasero.

Mukyala Museveni ng’assa omukono ku alipoota eyatongozeddwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Minisita w’ebyenjigiriza, Janet Museveni atongozza lipoota  y’okwekenneenya embeera
y’abantu abalina obukugu obusobola okukola mu ggwanga. Okunoonyereza kuno kwakolebwa gavumenti ya Uganda wamu  ne bbanka y’ensi yonna, (World Bank). Omukolo guno gwabadde mu maka g’obwapulezidenti e Nakasero.
Akulira akakiiko akavunaanyizibwa ku kunoonyereza kuno, Robert Belamine Okudi yategeezezza nti okuva mu December wa 2022 okutuusa April 2025,  babadde basisinkana abantu ab’enjawulo okubeebuuzaako.
Yannyonnyodde nti lipoota eno yeesigama ku mbeera y’abantu ebasobozesa okukola mu ggwanga, ebyenjigiriza, ebyobulamu n’ebyendya, amazzi n’obutonde, kwerinda kw’ebigwa bitalaze,emirimu ne bye basaba.
Mu byenjigiriza agamba waliwo okukula mu mpeereza omuli buli mu okwanguyirwa okusoma, okutandikawo enkola y’okusomesa abalina obulemu n’abatabulina n’ebirala. Ebyenjigiriza bikyalina okusoomoozebwa omuli abayizi okweyongera okuddamu ebibiina, okudduka mu ssomero ssaako omuwendo gw’abantuokweyongera. Mu byobulamu n’ebyendya agamba ekibisibye mulimu abakozi okuba abatono, amalwaliro
waliwo agatannazimbibwa wamu n’okufuna ebyetaago byago. Amazzi n’obutonde agamba wakyaliwo okuvujjirirwa kutono mu kubunyisa amazzi, obuyonjo n’okukuuma
obutonde bw’ensi.
Ku byemirimu, lipoota egamba abantu 50 ku buli 100 bokka be bakozesebwa mu katale k’emirimu.
Wabula nga kajja kwetaaga okugattako abakozi abalala obukadde 14, omwaka 2040 we gunaatuukira. Muky. Museveni yategeezezza nti nga bagezaako okutuukiriza ebiruubirirwa by’eggwanga, wadde nga baafuna okusoomoozebwa kwa Covid-
19, Ebola n’ekyeya wakyaliwo ebisoomooza ebirala omuli emirimu emitono, omuwendo gw’abantu okuba waggulu n’ebirala bwatyo n’asaba abakulembeze ab’enjawulo okusitukiramu. Yagambye alina okukkiriza nti abantu abalina obukugu okukola
bajja kweyongera okuva kati okutuusa mu mwaka 2030 bwatyo n’asuubiza okuwagira buli kimu okutuukiriza ekirooto ekyo