Abalimi n’abasuubizu b’ebirime mu Uganda ebyabwe byolekedde okutereera aba Uganda Airlines bwe bataddewo ennyonyi egenda obutereevu mu Bungereza nga yaakugwa ku kisaawe kye Gatwick emirundi ena mu wiiki.
Bano babadde bakaluubirirwa nnyo okusaabaza ebirime kubanga tewabadde nnyonyi egenda butereevu mu Bungereza.
Olugendo okuva e Ntebe okutuuka mu London lubadde lutwala essaawa 16 nga kati zigenda kufuuka mwenda zokka awatali kuyimirira kubanga bulijjo zibadde zikyamakyama nga zisooka kugwa ku bisaawe birala.
Minisita w’emirimu n’entambula, Edward Katumba Wamala y’alangiridde nga gavumenti bw’etaddewo entambula eno ku mukolo ogubadde ku woteeri ya Sheraton mu Kampala leero (March 19) n’agamba nti batuukirizza ekirowoozo Pulezidenti Museveni kye yaleera mu 2014 okuteekawo ennyonyi egenda obutereevu e London.
“Twali tutegeka ate Covid 19 n’ajja. Kati tumaze emyaka ebiri nga tuli mu kaweefube okulambikawo entambula eno. Nsiima aba Civil Aviation Authority, ekitebe kya Bungereza mu Uganda n’abalala bonna abasobozesezza kino okubaawo,” Minisita Katumba Wamala bwe yategeezezza.
Yamemye emigaso gy’ennyonyi eno egenda obutegeevu nti etenda kugasa nnyo abalimu ba Uganda okutwala buli kintu mu Bulaaya okuli ebimuli, emmwanyi, amatooke, muwogo, ameenvu, mukene, ennanaansi n’ebirala.
“Ennyonyi eno etandika okukola nga May 18 era lw’etongozebwa. Eby’enfuna ya Uganda bigenda kweyongera okutumbuka naddala eby’obulambuzi, eby’obulimi. Mutandike okugula tikiti,” minisita bwe yategeezezza.
Wabula anenyezza abagenda e Bulaaya ne balemerayo nga kye kimu ku bileese okukalubya okufuna viza ze Bungereza.
Kyokka agambye nti entambula ebadde enzibu kye kimu ku bibadde biremesa abantu okuva e Bungereza.
Abalala abagenda okuganyulwa be bayizi wamu n’abantu ba Uganda ababeera mu Bungereza.
Asuubizza nti gavumenti eri mu kaweefube wa kwongera mu muwendo gwa nnyonyi mu ggwanga nga kati ziri mukaaga zokka wabula n’ategeeza nti basobola n’okukaansa okutuukiriza obwetaavu.
Nnantebe w’akakiiko Civil Aviation Authority, Pricila Mirembe ategeezezza nti olugendo lwe London lwa ddoola z’Amerika 733.
Ejja kugenda e London emirundi ena mu wiiki ku Ssande, Olwokubiri, Olwokusatu n’Olwokutaano.
Ye omubaka wa Bungereza mu Uganda, Lisa Chesney asiimye gavumenti ne Uganda Airlines wamu ne Civil Aviation Authority okuteekawo ennyonyi eno n’agamba nti kati abalambuzi baakweyongera okujja mu Uganda.
“Abantu babadde beemulugunya olw’obutabaawo nnyonyi ejja mu Uganda butereevu okuva mu Bungereza. Kati emikisa gy’emirumu n’ebyenfuna gigenda kweyongera,” bwe yategeezezza.
Luno olugendo lweyongedde luwezezza engendo 17 mu mawanga 13 awagenda ennyonyi za Uganda Airlines.
Ssatu ziri bweru wa Africa ng’endala ziri mu Africa.