Aba URA badduukiridde enteekateeka z'e Namugongo

VIIKA Genero w’Essaza lye Lugazi, Msgr. Richard Kayondo akubirizza ab’ekitongole ky’omusolo ekya URA okutambula n’enkyukakyuka mu bya tekinologiya mu buweereza bwabwe. 

Aba URA badduukiridde enteekateeka z'e Namugongo
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Namugongo #URA #Kudduka #Nteekateeka

VIIKA Genero w’Essaza lye Lugazi, Msgr. Richard Kayondo akubirizza ab’ekitongole ky’omusolo ekya URA okutambula n’enkyukakyuka mu bya tekinologiya mu buweereza bwabwe. 

Bino yabyogeredde mu Mmisa gye akulembeddemu ku kitebe kyabwe e Nakawa mwe baasondedde obukadde 15, ze baawaddeyo okudduukrira Essaza ly’e Lugazi mu nteekateeka z’olunaku lw’Abajulizi olwa June 3.

Msgr. Kayondo bano yabakubirizza okukulembezaKatonda mu buweereza bwabwe n’okwettanira okumanya enkozesa ya tekinologiya naddala enkola eya A.I.

Kaminsona avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu URA, Abel Kagumire, yalaze obwetaavu bw’okwongera okusomesa Bannayuganda obukulu bw’okuwa omusolo n’asaba bannaddiini okubakwatizaako ku nsonga eno. 

Akulira eby’okulyowa emyoyo mu URA, Rev. Fr. Denis Kizito Ssebunya yakubirizza abakozi ba URA okunyweza enkolagana yaabwe ne Katonda ne bantu bannaabwe, okunyweza emirembe, obumu n’okukuuma obutonde bw’ensi.