POLIISI y'e Bwizibwera e Mbarara, ekutte abantu babiri, bagiyambeko mu kubuuliriza ku ttemu, mwe baatemedde omuwala ow'emyaka 30 obulago kumpi kwagala bukutulako.
Ritah Akankunda 30, ow'e Bwizibwera cell e Rutooma Town e Mbarara, y'attiddwa mu ntiisa , omulambo ne bagwambula engoye ne baguleka mu kitaba ky'omusaayi mu ddiiro nga gujjudde ebiwundu eby'amaanyi.
Embwa ya Poliisi ekonga olusu ng'ekola omulimu gwayo.
Poliisi e Rubindi, etutte embwa enkozi y'olusu n'ebakulembera okutuuka mu kaabuyonjo, omutemu mw'agambibwa okusuula engoye ze n'oluvannyuma n'ebatuusa ku nnyumba ya Javira Byamukama Mawuruba 19, n'akwatibwa.
Ebiso ebyakozeseddwa okutta omugenzi.
Byamukama mukozi mu maka ga Jolly Namutebi era nga kigambibwa nti mu kumukunya akkiriza nga bwe yapangisiddwa Winnie Kembabazi { Mulamu w'omugenzi} okutta Akankunda olw'embiranye ze babadde nazo era nga naye poliisi emukutte.
Ensonda zitegeezezza nti abasibe n’ebizibiti by'engoye okuli omusaayi ezaggyiddwa mu kaabuyonjo ezigambibwa okuba eza Byamukama, bikuumirwa ku poliisi y'e Bwizibwera ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.