Kkooti egobye abaana ba Kirumira ku mmaali ya BMK

Ekiragiro kino kirese Ssaalongo Gideon Kabuye Kirumira ne mwannyina Brenda Kirumira nga bombi baana b’omugagga Godfrey Kirumira nga bali mu kusoberwa.

Kkooti egobye abaana ba Kirumira ku mmaali ya BMK
By Benjamin Ssemwanga
Journalists @New Vision
#BMK #Mmaali #kugoba

KKOOTI Enkulu mu Kampala ekola ku byettaka eragidde abantu bonna abagambibwa okugula emmaali y’omugenzi Bulaimu Muwanga Kibirige (BMK) obutaddamu kusaalimbira wadde okusembera ku bizimbe bya kkalina ebisangibwa ku poloti 44, Block 273 Mulamula Road e Buziga.

Ekiragiro kino kirese Ssaalongo Gideon Kabuye Kirumira ne mwannyina Brenda Kirumira nga bombi baana b’omugagga Godfrey Kirumira nga bali mu kusoberwa.

Ekizimbe Ekizimbibwa Ku Poloti 44.

Ekizimbe Ekizimbibwa Ku Poloti 44.

Gideon Kirumira ne Brenda Kirumira mu kiseera kino balina olutalo kakuuse ne ffamire ya BMK naye eyali mu kibiina kya Bagagga Kwagalana ng’abaana bagamba nti Dan Meshack Okware eyasooka okugula ekizimbe ekiri ku Mulamula Road bbulooko 273 poloti 46 ku Yako Bank, yabaguza ekizimbe ekyo wabula abaffamire bagamba nti mu kifo ky’okutwala poloti 46, baazingiramu n’ebiri mu poloti 44.

ENSALA Y’OMULAMUZI
Mu nsala y’omulamuzi Samuel Kagoda Ntende gye yafulumizza ku Lwokubiri nga May 20, yakugidde omuntu yenna okuddamu kutaataaganya emirimu egikolebwa ku poloti 44, n’obutaddamu kusaalimbira ku poloti eno okutuusa omusango ogwawaabwa abaffamire ya BMK ku fayiro nnamba 0269/2025 lwe gunaasalwa.

Kino kirese Gideon Kirumira ne Brenda Kirumira mu kattu nga bagamba nti baagula emmaali yonna eri ku poloti 46 nga ne poloti 44 nayo ezingirwamu bye baalina okutwala.

 

Wabula abaffamire ya BMK nga bakulemberwa omusika Ali Kibirige bagamba nti ettaka eriri ku poloti 44 lyo teririna kukwatibwako era oluvannyuma lw’abakozi abaali bazimba ku poloti 44 n’abapangisa okugobwa, abaffamire ya BMK baddukira mu kkooti ne bawaabira Okware ne banne n’okubayimiriza obutaddamu kusaalimbira mu poloti yaabwe.

Nga tannawa nsala eno, omulamuzi Ntende yeesitula nga May 8, 2025 n’agenda e Buziga ku ttaka awali enkaayana okuzuula ekituufu era yasanze akaseera akazibu olwa bakifeesi abaali bapangisiddwa okukuba abantu amayinja n’okukasuka ccupa ezirimu amafuta ga peetulooli nga bazikoleezezzaako omuliro okufaanana bbomu era poliisi ya miritale ye yabayoola.

Kkooti yabakugidde obutaddamu kutaataaganya byonna ebikolebwa ku poloti 44 wabula basigale ku ku poloti 46 okutuusa omusango ogukyali mu kkooti lwe gunaasalwa.

Ffamire ya BMK yatandika okuttunka n’emisango egy’okununula emmaali oluvannyuma lwa kitaabwe okufa mu September wa 2021, omu ku batabani be Haruna Muwanga Kalule bwe yeewola ssente okuva mu bantu ab’enjawulo n’asingayo ebyobugagga bya ffamire okusinziira ku booluganda.

Ssente ezaamuwolebwa abaffamire bagamba nti zaali zize nga omuntu sso si ffamire, era balumiriza nti n’ebiwandiiko by’ettaka bye yakozesa mu bbanka ne mu bantu ssekinnoomu byali bijingirire nga mu kiseera kino balwana okulaba nga babinunula.