Abattakisi bawandiikidde Sipiika ku by’okwekebejja mmotoka

ABAKULEMBEZE mu mulimu gwa ttakisi mu ggwanga bawandiikidde Sipiika wa Palamenti nga bamusaba ayimirize enkola y’okwekebejja mmotoka zonna ku buwaze esuubirwa okutandika ekiseera kyonna.

Abattakisi bawandiikidde Sipiika ku by’okwekebejja mmotoka
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Ttakisi #Sipiika #Mmotoka #Kwekebejja #Kuwandiika

ABAKULEMBEZE mu mulimu gwa ttakisi mu ggwanga bawandiikidde Sipiika wa Palamenti nga bamusaba ayimirize enkola y’okwekebejja mmotoka zonna ku buwaze esuubirwa okutandika ekiseera kyonna.

Baakulembeddwa ssentebe wa UTOF, Rashid Ssekindi n’omumyuka we, Musitah Mayambala nga bayambibwako n’abakungu okuva mu kibiina ekigatta abakozi ekya “Amalgamated Transport And General Workers Union” [ATGWU] mwe beegattira.

Abamu Ku Bakulembeze Ba Ttakisi Okuva Mu Disitulikiti Za Uganda Nga Bakung’aanidde Ku Muzikiti Gwa Kampalamukadde Ku Lwokuna.

Abamu Ku Bakulembeze Ba Ttakisi Okuva Mu Disitulikiti Za Uganda Nga Bakung’aanidde Ku Muzikiti Gwa Kampalamukadde Ku Lwokuna.

Baddereeva baagala gavumenti esooke eyimirize enkola y’okukeberanga mmotoka ku buwaze eya Mandatory Periodical Vehicle Inspection’ egenda okutandika mu July, 2025, basooke batereeze enguudo.

Baabadde mu lukiiko lwe baatuuzizza ku kitebe ky’omuzikiti gwa Gaddafi Mosque e Kampalamukadde ku Lwokuna.

Gye buvuddeko palamenti yayimiriza kkampuni ya SGS eyali eweereddwa omulimu gw’okwekebejja ebidduka ku buwaze, nga kati omulimu gugenda kukolebwa gavumenti, oluvannyuma lw’okugula ebifo omusanvu ebyali bizimbiddwa kkampuni eno e Namanve -Mukono, Kawanda -Matugga, Namulanda -Entebbe Road, e Mbale n’e Mbarara.

Abattakisi bagamba, enkola y’okukebera ebidduka si mbi, wabula enguudo kwe zitambulira zijjudde ebinnya ekikaddiya ttakisi ne bagamba nti ku ttakisi eziri ku luguudo ebitundu 80 ku 100 teziyinza kuyita kugezesebwa.

Baayogedde ne ku nkola empya ey’okukuba ebipapula eya ‘Intelligent Transport Monitoring System’ (ITMS) nti yaleetebwa kukendeeza bumenyi bw’amateeka ng’erondoola mmotokaezibbibwa, so si kukuba bipapula.

Omwogezi wa minisitule y’ebyentambula, Suzan Kataike yagambye nti okutongoza enkola y’okukuba ebipapula yayongezeddwaayo nga balinda olunaku olutuufu olunaabaweebwa.