Ssemaka alese atundidde mu nnyumba mukazi we gw'abadde amaze naye emyaka 22 mu bufumbo obutukuvu n'adduka

Annet Mudondo 43, y’asangiddwa mu maka ge e Kitebi Star Zzooni e Mutundwe mu Lubaga ng’alaajana olwa bba John Kanyamiyigo okumuyita ku litalaba ne yeezibika ensimbi ezaatundibwa mu kibanja ate n’adduka nga teri gw’agambye nti kitundiddwa.

NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Maka #Ssemaka #Kutunda #Mukazi

Annet Mudondo 43, y’asangiddwa mu maka ge e Kitebi Star Zzooni e Mutundwe mu Lubaga ng’alaajana olwa bba John Kanyamiyigo okumuyita ku litalaba ne yeezibika ensimbi ezaatundibwa mu kibanja ate n’adduka nga teri gw’agambye nti kitundiddwa.

Mudondo Bw'afaanana Kati.

Mudondo Bw'afaanana Kati.

Mudondo agamba nti baafuna obutakkaanya ne bba gwe yagattibwa naye mu 2003 ne basalawo baawukane era baggukira ku kya kutunda kibanja omuli amaka buli omu atambulemu ensi yeri mulaba.

Baagenda ewa Ssentebe w’ekyalo Henry Kasule ne bamuyitiramu ensonga zaabwe era n’abawandiikira ebbaluwa ebasemba okukola ekyo. Omwami yakkiriza naye n’agamba omukyala nti kati omuyiggo gw’okunoonya omuguzi agutandise.

Kanyamiyigo yamutegeeza nti olunaamufuna ajja kumuleeta amumwanjulire era bakkaanye ne ku mutemwa olwo buli omu atwale omunyago gwe baawukane nga ba bibgwo.

Mudondo Ne Bba Lwe Baagattibwa Mu 2003.

Mudondo Ne Bba Lwe Baagattibwa Mu 2003.

Baali bateesezza okutundawo ssente ezitakka wansi wa bukadde 120 era nga baakugabana kyenkanyi esizigaddewo bagulemu amaka g’okukuumiramu abaana.

Mudondo agamba kyaliba ng’olwokuba yali atadde omukono ku ndagaano y’okukkiriza okutunda ekibanja, Kanyamiyigo kisoboka okuba ng’omukisa gwe yakozesa ye n’afuna omuguzi n’atunda nga ye taliiwo ne yeezibika ensimbi zonna.

Endagaano baagikola mu 2021 kyokka mu January wa 2025 ku ssaawa 4:00 ogw’ekiro Annet anyumya nti, wajja abasajja abaagala okutwala ennyumba mbu baagulawo dda okuva ku mwami Kanyamiyigo.

Baatandika okumenya mu kiro ekyo nga bamugamba kimu nti bo baserikale tewali ky’asobola kubakola. Annyonnyola nti yakuba enduulu nga bimusobedde kyokka bano baali bamaliridde okugitwala era ku olwo baggyamu amadirisa ne bagenda nago kati asula mu kifulukwa.

Mudondo yasabye be kikwatako bamuyambe okukwata omusajja eyamufera nga n’essimu ze teziriiko tamanyi gye yalaga oluvannyuma lw’okumubba. Agamba nti yamulekera abaana musanvu talina ky’abaliisa n’asaba nti waakiri yaalimuwadde ku ssente ze yatunda mu kibanja nga bwe byali mu ndagaano gye baakola.

Gerald Kibirige agambibwa okugula ennyumba agamba nti ekifo yakigula dda okuva ku Kanyamiyigo era alina n’endagaano kyokka yategeezezza nti omusajja teyakwata ku ssente zino wabula yamusaba amuzimbire awalala.

Yannyonnyodde nti yamufunira ekifo e Ssemuto mu Bulemeezi ku ddeesimoolo 68 kumpi yiika nnamba mwe yamuzimbira amaka era mwali atudde nga kyaliba omukazi yagaana okugenda naye.

Yasabye Mudondo okwamuka ekifo kye kuba yagulawo era n’amusuubiza n’okumuwawaabira mu kkooti amuliyirire ssente z’azzenga asaasaanya mu misango gy’amuloopa mbu amugoba mu nnyumba.

Eky’okuggyamu amadirisa, Kibirige agamba nti Mudondo ne mutabani we be baageggyiramu nga baagala okumuwaayiriza kyokka n’abalabula nga bw’ayagala okutwala ennyumba ye nga byonna bye yaguliramu biwera.