PULEZIDENTI Museveni akomekkerezza okulambula disitulikiti ya Luweero, Nakaseke ne Nakasongola ng’alambula enteekateeka ya PDM n’enkulaakulana wakati mu kumusaba addemu okwesimbawo mu 2026 bamuyiire obululu olw’ebirungi by’abakoledde.
Mu bugenyi buno era Pulezidenti yeeweredde okukangavvula ababba waya n’ebikondo by’amasannyalaze n’agamba nti ajja kubakolako.
Abakulembeze n’abawagizi ba NRM beeyiye ku kisaawe e Wabinyonyi mu Nakasongola mu lukung’aana olwasembyeyo nga lwetabiddwaamu ebikumi by’abawagizi ba NRM.
Museveni yagambye ekiteeso ky’okuddamu okwesimbawo waakukitwala mu CEC kyokka ne yeebaza abantu okumuwagira.
Omubaka omukazi owa Nakasongola, Victorious Zawedde yaloopedde pulezidenti ebizibu omuli abantu okugobaganyizibwa ku ttaka, amasannyalaze agavaavaako, enguudo embi, amagye okubagoba ku nnyanja n’ebizibu ebirala.
Museveni yasabye abavubi okukomya okuvuba obwennyanja obuto n’asuubiza okussaawo ensawo ey’enjawulo eri abavubi n’okusisinkana abavubi ku nnyanja Kyoga ne Albert okulaba engeri gye bawa layisinsi abavubi bakansangwawo.
Ba RDC yabasabye okutalaaga ebyalo okusomesa etteeka ly’ettaka okulaba ng’abantu tebamala gasengulwa.
Museveni yasookedde ku kyalo Kiramata mu ggombolola y’e Nabiswera n’aggulawo ekkolero lya Pura Organic Agro Tech Ltd erikola sitaaki okuva mu mawogo.
Yagambye, amakerenda agakolebwa aba Quality Chemicals gaakukka ebbeeyi kuba sitaaki agakola babadde bamulagiriza kuva Buyindi.
Minisita w’ebyamakolero n’obusuubuzi, Gen. Mbadi yagambye lino ly’ekkolero lya sitaaki ava mu muwogo erisoose mu ggwanga.
Nga tannagenda Nakasongola, ku Lwokusatu bwe yabadde mu maka g’obwapulezidenti e Nakkazi mu kibuga Luweero gye yatuuzizza olukung’aana lw’abamawulire, yategeezezza nti gavumenti yaakassa obuwumbi 60 mu nkola ya PDM n’agamba nti kya busika ky’alekedde abantu nga balina okukikwata obutiribiri.
Yagambye ssente zino za buli Munnayuganda awezezza emyaka 18 ng’aliko byakola.