Ttiimu y'ekkanisa ya Shincheonji eya Tayikondo ewangudde emidaali

Ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus ye yalidde empanga ku mutendera gw'ensi yonna. Agikulira Lee Man-hee n'awaga nti bajja kukola nga bwe batyo buli mwaka n'okusingawo.

Ttiimu y'ekkanisa ya Shincheonji eya Tayikondo ewangudde emidaali
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Shincheonji #Shincheonji Church of Jesus #Lee Man-hee #Park Chung-hee Cup #South Korea

TTIIMU y'ekkanisa yeriisizza enkuuli mu mpaka za Tayikonde n'ewangula emidaali okuli zaabu, siliva n'ekikomo.

Ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus ye yalidde empanga ku mutendera gw'ensi yonna. Agikulira Lee Man-hee n'awaga nti bajja kukola nga bwe batyo buli mwaka n'okusingawo.

Emidaali baagiwangudde mu mpaka z'ekikopo kya Park Chung-hee Cup ekyategekeddwa aba Gyeongbuk Taekwondo Association nga bali wamu ne Sangju Taekwondo Association. 

Empaka zaayindidde mu Sangju Indoor Gymnasium okumala ennaku nnya okuva nga July 18 okutuuka July 21 era zaagenze okuggwa ng'aba Shincheonji Church of Jesus bawangudde zaabu emidaali ena (4), feeza musanvu (7) n'ekikomo emidaali 14. 

Abeetabye mu mpaka zino baasusse 4,200 okuva mu mawanga 18 okuli: South Korea, Amerika, Bufaransa n'abalala abeetabye mu mpaka z'okukuba tayikondo, ensambaggere n'okumeggama mu mpaka z'ebitone eby'enjawulo.

Olwa July 17 aba Shincheonji Church of Jesus baalaze amaanyi mu mpaka z'emisinde ne bawangula emidaali gya zaabu ena ne feeza musanvu. Empaka z'omwaka guno, Korea eyongedde okufunamu bwe bafunye omwagaanya okwolesa obuwangwa n'ennono yaabwe ku mutendera gw'ensi yonna.

Lee Jun-wi, eyawangudde zaabu yagambye nti tebaafunye budde bubamala kutendekebwa nga bwe baabadde betaaga wabula akadde akatono ke baafunye baakakozesezza bulungi okusobola okutuuka ku buwanguzi.

Kim Deok-hoon omutendesi wa ttiimu eno yategeezezza nti empaka zino engeri gye zaabadde ku mutendera gw'ensi yonna, abakugu bangi abeetabyemu ekyaleseewo okuvuganya okwamaanyi.

 "Okusinziira ku bibaddewo n'obuwanguzi bwe tutuseeko tujja kwongeramu amaanyi mu kutendeka n'okuwa abazannyi baffe obukodyo obupya okulaba nga tukola bulungi okusingako wano omwaka ogujja bwe yaggumizza.

Ttiimi ya Shincheonji eya tayikondo, buli mwaka eyongera okwolesa omutindo, ku ntandika y'omwezi guno beetabye mu mpaka za Kim Un-yong Cup era abazannyi 12 baawangudde emidaali ababiri be baasinze, bana ne bakwata kyakubiri ate abataano ne bamalira mu ky'okusatu.

Omwaka oguwedde (2024) abazannyi bataano kw'abo 18 abeetaba mu mpaka ze zimu baawangula emidaali. Bagamba nti ng'oggyeeko okubuulira enjiri, beenyigira ne mu kutumbula ebitone eby'enjawulo mu by'emizannyo, okwolesa obuwangwa n'ebitone ebirala nga katemba n'okuyimba.