Ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus  mu South Korea etikkidde abayizi 111,628 mu by'okulyowa emyoyo

EKKANISA ya Shincheonji Church of Jesus mu South Korea ekoze likodi bw'etikkidde abayizi 111,628 ku matikkira gaayo ag'omulundi ogwa 115.Ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus  mu South Korea etikkidde abayizi 111,628 mu by'okulyowa emyoyo

Abamu ku baatikiddwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Shincheonji Church of Jesus #South Korea #Zion Christian Mission Center #Lee Man-hee

EKKANISA ya Shincheonji Church of Jesus mu South Korea ekoze likodi bw'etikkidde abayizi 111,628 ku matikkira gaayo ag'omulundi ogwa 115.

Bagambye nti beenyumiriza mu kubeera nga babanguddwa n'okubazibula amaaso mu kubikkulirwa okubalagiddwa.

Gano matikkira ga kkanisa ya  Zion Christian Mission Center kyokka gategekeddwa Shincheonji Church of Jesus.

Abatikkiddwa kuliko Bapasita 3,377 ekyongedde okwoleka ettutumu n'amaanyi g'ekkanisa. Omukolo gwabaddewo ku nkomerero ya October gwali gutegekeddwa e Paju Imjingak Peace Nuri Park wabula ne gusazibwamu Gavumenti.

 Omukolo gw'okutikkira gwakulembeddwa Dayirekita Tan Young-jin ng’ayambibwa ssentebe Lee Man-hee. 

Okuva gavumenti lwe yasazaamu omukolo, abatikkirwa okuva munda e South KKorea babadde bagwesunga.

Ababtu abakunukiriza 10,000 okuva mu mawanga amalala n'abalala 1,000 okuva munda mu South Korea bebaafunye ebbaluwa.

Ssentebe Lee ng'ayogera

Ssentebe Lee ng'ayogera

Ng'oggyeeko Bapasita 3,377 be baatikidde, abalala 6,203 bakyali mu kitendekebwa. Omukolo gwakoleddwa nga bakubiriza Abakulembeze B'enzikiriza okubeera obumu okwewala entalo z'eddiini, Enjawukana N'okukolerera emirembe.

Be baatikkidde abatasobodde kubeerawo mu buntu baabadde ku mikutu egy'enjawulo ku yintanenti nga basinziira mu mawanga gaabwe.

Ssentebe Lee yabayozaayozezza n'abategeeza nti mu Bayibuli mulimu omuti ogw'obulamu ogwasibukako endokwa 12.

“ Tuteekwa okwenyumiriza mu kkanisa ezaatulera gye twakulira.,” Lee bwe yaggumizza.

Yabakuutidde okugenda  nga babunyisa ebibatendekeddwa nga babibunyisa okwetoloola ensi nga tebasuubira kusasulwa oba okuweebwaensako 

Okunoonyereza okwakoleddwa ng'okutikkira tekunnaba Kubeerawo, kwalaze nti Shincheonji Church of Jesus, okuva October 20, mu wiiki emu yabadde eyagala abagoberezi 1,485 abali wakati w'emyaka 19 ne 39.