Balaajanidde ebitongole by'ensi yonna ku Gavt. ezirinnyirira eddembe ly'okusinza

Balaajanidde ebitongole by'ensi yonna ku Gavt. ezirinnyirira eddembe ly'okusinza
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Shincheonji Church of Jesus #Gyeonggi Tourism Organization #South Korea

EBIBIINA ebigatta enzikiriza e South Korea biraajanidde ebitongole ku mutendera gw'ensi yonna okulondoola ebigenda mu maaso ku kulinnyirira eddembe ly'okusinza bikangavvule abakikola.

Ebibiina okuli The Association for Buddhist National Unification of Korea ne Shincheonji Church of Jesus bye biraajanye ku mbeera enzibu gye biwererezaamu.

Kino kiddiridde aboobuyinza mu South Korea, okusazaamu olukung'aana lw'enzikiriza oluli ku mutendera gw'ensi yonna ku ssaawa esembayo kye bagamba nti kikosezza erinnya lyabwe mu nsi yonna n'okubafiiriza ssente.

Bagamba nti olukungaana luno lubadde lulina okwetabibwamu abantu 30,000 okuva mu mawanga 78.

Ekiragiro gavumenti yakiwadde nga October 29, 2024 n’esazaamu olukung'aana olwabaddeko omukolo okutongoza olukiiko olugatta abakulembeze b’enzikiriza “Religious Leaders Forum” n’okutikkira abakuguse mu by’eddiini. Omukolo gwabadde gwakubeera  Paju, South Korea. 

Gubadde gulina okwetabibwako abantu 30,000 nga kuliko n’abakulembeze 1,000 okuva mu nzikiriza ez’enjawulo okuli: Enzikiriza za Kristo, Abasiraamu aba Hindu ne Budha.

Ekitongole kya gavumenti ekya  Gyeonggi Tourism Organization mu ssaza ly’e Gyeonggi kyawadde ekiragiro nga kirina okukola mbagirawo kyokka abategesi bagamba nti baali baafuna dda olukusa.

Bateebereza nti obuzibu bwavudde ku kulimirirwa okuva mu nzikiriza endala. Abategesi bagamba nti ekikolwa kityoboola Ssemateeka, okulinnyirira eddembe ly’obuntu, okusosola mu nzikiriza n’okutyoboola eddembe ly’okusinza.

Abategesi bagamba nti baafuna olukusa nga October 23, ne baddamu okukasa nga October 28 kyokka olunaku lwa October 29 gavumenti ne yeefuula nga buli kimu kiwedde.

Ekitongole kya  Gyeonggi Tourism Organization kyannyonnyodde nti entabwe yavudde ku byakwerinda balina obuzibu bwe beekengedde. Kyokka abategesi bagamba nti waliwo enkungaana endala ezakkiriziddwa mu kitundu kino.

Lipooti eyakolebwa ministule y’ensonga z’ebweru mu Amerika, ekwata ku ddembe ly’okusinza eraga nti gavumenti eyigganya aba  Shincheonji Church of Jesus era egaana n’okuyisa pulaani eziriko enteekateeka z’okuzimba emizikiti.

Ebibiina okuli: The Association for Buddhist National Unification of Korea ne Shincheonji Church of Jesus balaajanidde gavumenti ya South Korea esse ekitiibwa mu ddembe ly’okusinza.

Bakowodde ebitongole ku ddaala ly’ensi yonna okulondoola ebeera eno n’okubeerako ne kye bikolawo.