Olukungaana lw'enjiri gaggadde olwetabiddwamu abantu abasoba mu 16,000 e Jeonju, lukomekerezeddwa wakati mu nnyimba n'okusaakaanya.
Bapasita abasukka mu 250 be beetabyemu ate abalala abasoba mu 200 babadde bagoberera ku mikutu gy'oku mutimbagano.
Basimbye ennyiriri n'okuyimba ennyimba ennansi mu kuyingira ekkanisa ya Shincheonji, Jeonju Church wamma omukolo ne guwuuma!
Olukungaana olwatandika ku ntandikwa ya September era lwakomekerezeddwa ku Ssande nga October 13. Essira libadde ku kumenyaamenya n'okutegeera amakulu agali mu kitabo ky’okubikkulirwa.
Lubadde mu kibuga Jeonju, e South Korea mu North Jeolla Province. Lutegekebwa ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus, ekulemberwa Sentebe wasyo Lee Man-hee.
Lee Man-hee yagambye nti bangi abaayagadde okwetabamu naye olw’obugazi bw’ekifo, ebyokwerinda n’obulamu bw’abantu, abamu tebakkiriziddwa kutuuka mu kifo kino.
Abeetabyemu nga bayita ku mutimbagano baaweze 117,000. Abaatuuse ku kifo kyennyini, baakijjuzizza nga wabulayo essaawa nnya omukolo okutandika ne batuula munda n’ebweru.
Baasimbye ennyiriri mu buwanvu bwa kiromita nnamba nga baaniriza abazze. Bbandi y'amagye ye yakubye ennyimba ezitendereza.
Bapasita abasoba mu 250 okuva mu nzikiriza ez’enjawulo be beetabyemu.
Lee Man-hee mu bubaka bwe yawadde ng’aggulawo, yasabye Bapasita nti bwe wabeerawo awulidde ensobi mu by’ayogera waddembe okuwanika omukono n’amugolola.
Yagambye nti nga Yesu bwe yatuukiriza obunabbi obwaweebwa mu ndagaano enkadde, obubaka obuli mu kitabo ky’okubikkulirwa butuukirira mu kiseera kino.
Yakyogedde akidding'ana nti ebyawandiikibwa mu kubikkulirwa tebisaana kumala gongerwako oba okuggyibwamu.
Yasabye abeetabyemu balabe abantu abawa obujulizi mu kkanisa ya Shincheonji Church bye bafunidde mu kubikkulirwa.
Bwe yawadde obubaka buno, Bapasita babiri abagenyi we baasitukidde ne bamuwa ekimuli okumusiima. Baasubizza okwongera okuyiga n’okubunyisa obubaka bwe yawadde.
Paasita eyavudde e Jeonbuk yagambye nti ekyewuunyisa okulaba nti obubaka obuli mu kubikkulirwa bye bisuubizo Yesu bye yawa.
Bammemba b’ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus okuva mu ggwanga lyaba Ttomasi, beenyigiddemu butereevu okulaga ebirungi by’olukungaana ne bakuba n’ebifaananyi by’ennyiriri.
Ku ntandikwa y’omwezi guno basooka kukumba n’okuyisa ekivvulu mu bitundu nga Jeonju Pungnam Market ne Jeonju Hanok Village, nga bagatta amaanyi ku kubunyisa enjiri y’okubikkulirwa.
Eyakiikiridde ekkanisa ya Shincheonji Church, yeebazizza bonna abeetabyemu naddala bapasita abamaze ennaku 20 n’asuubiza okwongera okuteekawo enkungaana endala bongera okusisinkana.