Abakkiriza 25,000 beetabye mu kwekalakaasa nga bawakanya ekya Gav't okusazaamu olukung'aana lw'enjiri e South Korea

Abakkiriza 25,000 beetabye mu kwekalakaasa nga bawakanya ekya Gav't y’essaza ly’e Gyeonggi - South Korea okusazaamu olukung'aana lw'enjiri.

Abakkiriza 25,000 beetabye mu kwekalakaasa nga bawakanya ekya Gav't okusazaamu olukung'aana lw'enjiri e South Korea
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#South Korea #Gyeonggi #Paju Imjingak Peace Park #Shincheonji

Okwekalakaasa kuno kwaddiridde ekitongole ky'ebyobulambuzi ekya Gyeonggi okusazaamu enteekateeka z’omukolo ogwabadde gusuubirwa ennyo mu Paju Imjingak Peace Park nga 30 omwezi oguwedde.

Omukolo ogwasaziddwaamu gwabadde gusuubirwa okwetabamu abakulembeze b'eddiini 6400 ku mutendera gw’ensi yonna wamu ne bammemba ba Shincheonji okwetoloola ensi.

Abakkiriza wamu ne bammemba bakyewuunya ekyaviiriddeko olukung’aana luno okusazibwamu so nga abakozi ba Shincheonji 11,000 bamaze omwaka mulamba nga bakola butaweera okwetegekera omukolo nga n’ennaku ezaasembyewo ababadde bamaze okuzimba siteegi, okutegeka obutebe, okuwawula ebyuma gattako okugezesa ebintu ebirala.

Ekyasinze okutabula abakkiriza nti bonna ababadde mu nteekateeka z’okutegeka ku sayiti baalagiddwa Gavumenti y’essaza lya Gyeonggi ng’eyita mu kitongole ky’ebyobulambuzi ekya Gyeonggi okwamuka ekifo mbagirawo.

Abakulu ba Shincheonji bagamba nti Gavumenti y'essaza ly'e Gyeonggi n'ekitongole ky'ebyobulambuzi e Gyeonggi baayimiriza olukung’aana luno nga 29 October nga bagamba nti beeraliikirivu olw'obutabanguko obugenda mu maaso mu North Korea.

Bagamba nti nti enkola eno bagiraba ng’egendereddwaamu okunafuya enzikiriza yaabwe kubanga emikolo emirala tegyagaaniddwa okuggyako ogwabwe, kye bagamba nti Gavumenti yee nti era okugaana ra n'agamba nti "okugaana okwo kwali kwa ludda lumu era kitegeeza kunyigiriza bannaddiini, kubanga emikolo emirala egibadde girina okutegekebwa mu kifo kino gyakkiriziddwa kyokka ogwa Shincheonji ne gusazibwamu.

Lee Gi-won, Ssaabawandiisi w’ekkanisa ya Shincheonji yagambye nti, "Wadde nga ekigo Paju kyanokolwayo ng’ekyobulabe olw'obutakkaanya obweyongedde ne North Korea, twabuuza enfunda n'enfunda n'abakulembeze abakwatibwako era ne tufuna obukakafu nti tewali nteekateeka ya kugoba mukolo gwaffe." 

Lee Gi-won yayongedde okuvumirira ab'obuyinza olw'okubuusa amaaso amateeka n'emisingi gy’eggwanga ne baweereza ekiragiro ky'okusazaamu olukung’aana lw’enjiri luno ng'ebula olunaku lumu lwokka luggulibwewo.

Poliisi eyiwa abaserikale okutangira abeekalakaasi

Poliisi yasindise abaserikale 400 okuva mu bibinja mukaaga ne beetooloola ekkuumiro lya Gwanggyo Central Park n'enguudo okumpi n'ekizimbe kya gavumenti y'essaza okutangira abeekalakaasi be ababadde basuubira okukola effujjo ekitabaaddewo kuba beekalakaasizza mu mirembe. Baazibye n'amakubo agawerako ku nguudo okuva ku mulyango ogwokubiri ogw'ekizimbe kya gavumenti y'essaza okutuuka ku mulyango gw'obukiikakkono kyokka tewaabaddewo kulwanagana kwonna mu kiseera ky'okwekalakaasa.

Kinajjukirwa ntigwa October, ekitongole ky'ebyobulambuzi ekya Gyeonggi Tourism Organization kyayisa ekiragiro ekisazaamu omukono gw’ekkanisa ya Shincheonji ogwa, "Religious Leaders Forum and Graduation Ceremony," ogwabadde gukkirizibwa nga July 22.

Omubaka w'ekitongole kino yannyonnyodde nti, "Okuva bwe kiri nti Imjingak Peace Park eri kumpi n'ensalo ya North Korea, era nga tulowooza ku butakkaanya obweyongedde gye buvuddeko wakati wa South Korea ne North Korea, tetwalina kya kukola okuggyako okusazaamu omukolo guno. Ekirala, omukolo guno gwalimu ebintu ebiyinza okunyiiza North Korea ng'ebibaluuni eby'omu bbanga, obunyonyi obukwata ebifaananyi gattako okutulisa ebiriroriro mu bbanga.”

Nga 15 omwezi oguwedde, essaza ly'e Gyeonggi lyanokolayo ebitundu okuli; Paju, Gimpo ne Yeoncheon ng'ebifo eby'obulabe era kibadde kiziyiza okusaasaanya kw’empapula n’ebiwandiiko bya ‘pokopoko’ okuva mu North Korea okwewala okusasamaza abatuuze.

Oluvannyuma lw'okwekalakaasa, aba Shincheonji bateekateeka okusindika ebbaluwa entongole eri Gavumenti y'essaza ly'e Gyeonggi nga babasaba okuvaayo babeetondere mu butongole gattako okubaliyirira olw’okusazaamu omukolo guno ogwabadde guteereddwaamu obulindo n’obulindo bwa ssente okugutegeka.

Ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus, Temple of the Tabernacle of the Testimony ewa obujulizi ku kubikkulirwa n’ebintu ebirabiddwa n’okuwulirwa okusinziira ku Katonda by’ayagala era ekola okuwonya amawanga gonna.