EKKANISA e Tanzania ewadde Bapaasita ebigezo by'eddiini ne batuuyana.
Bino byakoleddwa ekkanisa ya Shincheonji e Tanzania wiiki ewedde okupima okugezesa Bapaasita kye bamanyi mu nzikiriza yaabwe n'enjiri gye babuulira.
Kino baakikoze nga basinziira ku byawandiikibwa mu kubikkulirwa 22:18–19, ekigamba nti weekubemu ttooki, okuumye ekigambo nga Bayibuli bw'egamba.
Enteekateeka yawomeddwamu omutwe aba Shincheonji Church of Jesus Tanzania, ekulemberwa Paasita Yoon Hyun-chul. Enteekateeka yabadde mu bitundu eby'enjawulo okuli n'ekibuga Dar es Salaam.
Yabakuutidde nti ekigendererwa ekikulu kwe kumanya nti ddala Bapaasita n'abakkiriza abayaayaanira eggulu, bakuumye okukkiriza nga bwe kubasomesebwa mu kubikkulirwa!.
Ekigezo kyabaddemu ebibuuzo nga balina okubyanukula mu ddakiika 10 zokka nga tekipima magezi gabitabo gokka wabula n'okupima oba okukkiriza bakuteeka mu bikolwa.
Abaakoze ekigezo baabadde 138 nga kuliko bammemba b'ekkanisa eno n'Abakristaayo abalala.
Abaakakasizza nti baanyweza okukkiriza baafunye obubonero 95 abalala ne bakoobera nga bafunyeyo musanvu bwokka.
Baabagumizza nti ekikulu si bubonero bw'ofunye wabula okwekubamu ttooci bamanye emitima gyabwe we giyimiridde ku bikwata ku Katonda.
Omu ku Bapaasita abaakoze ekigezo yagambye nti okulaba bammemba b'ekkanisa nga bakola ekigezo kyamwongedde okwongera okwetunulamu ku kuyitibwakwe mu buweereza bw'alimu.
Akulira ekkanisa eno mu nsi yonna ng'asinziira e Korea, emirundi mingi aggumiza amakulu agali mu kubikkulirwa 22:18–19 ng'agamba nti omuntu okuyingira eggulo tasaana kutoolako wadde okwongera ku kyawandiikibwa ekyo.
Gye buvuddeko, ekkanisa yeemu yategese ekigezo ekifaanana bwekiti e Korea kyetabiddwamu abantu 313.
Bagamba nti okuva ekkanisa lwe yaggulawo e Tanzania mu 2018, kati eweza bammemba 2,440.