Amawulire

Ttiimu ya NIC ey'okubaka efunye Kapiteeni omuggya

Oluvanyuma lw'okuvibwako abadde kaputeeni waabwe  Joan Nampungu, kiraabu ya NIC eronze omuzannyi Florence Adunia ku bwa kaputeeni bwa ttiimu. Adunia wakumyukibwa Margaret Baagala ne Shifah Nalukenge.

Ttiimu ya NIC ey'okubaka efunye Kapiteeni omuggya
By: Olivia Nakate, Journalists @New Vision

Oluvanyuma lw'okuvibwako abadde kaputeeni waabwe  Joan Nampungu, kiraabu ya NIC eronze omuzannyi Florence Adunia ku bwa kaputeeni bwa ttiimu.

 Adunia wakumyukibwa Margaret Baagala ne Shifah Nalukenge.

Amyuka omutendesi wa NIC Ali Mugisha ategeezezza nti  ebimu ku byatunuuliddwa nga bawa Adunia obwa kaputeeni  kwe kuba nga mukozi ate nga alina empisa.

"Adunia yatondwa nga mukulembeze, mu kakamu ate asobola okulola ensombi za banne nga taleseewo kusasamaza. Abazannyi bamwagala era manyi bulungi nga ye ne Adunia bajja kutwala ttiimu eno mu maaso," Mugisha bweyategezeza

Joan Nampungu yava ku ttiimu ya NIC mu November w'omwaka oguwedde  nga abakulirira kiraabu ya NIC bategeeza nti yatekamu okusaba kwe okuwumula okusobola okugenda mu maaso n'emisomo gye wamu nokulabirire famile ye.

Ssaawa eno NIC eri mukifo kyakusatu  nobubonero 22 nga Prisons yekulembedde liigi nobubonero 24 nga ebwenkanyankanya ne KCCA abali mukyokubiri.

Tags: