AMERICA evudde mu mbeera n’ekola ennumba ez’omutawaana ku bamasinale ba Iran ab’akabinja k’aba Houthi akasibuka mu ggwanga lya Yemen, n’erabula ne Iran nti y’eddako singa tekomya kuvujjirira bubinja bw’abatujju.
Trump okuva mu mbeera, kiddiridde akabinja k’aba Houthi okukola ennumba ku mmeeri ezitambuza eby’amaguzi eziyita mu liyanja lya Red Sea, ng’egamba nti ekikola olw’olutalo lwa Yisirayiri e Gaza.
Abantu 32 be baafiiridde mu bulumbaganyi buno, ate abalala 101 ne basimattuka n’ebisago eby’amaanyi, okusinziira ku minisitule y’ebyobulamu ey’akabinja k’aba Houthi.
America yakubye enfo z’aba Houthi eziwerako mu bibuga okuli Saada, Sanaa, ne Al-Bayda.
Trump yalabudde Iran okulekeraawo okuvujjirira obubinja bw’abatujju mu kyondo kya Buwarabu, bwe yagambye nti Bukola obulumbaganyi ku mikwano gya America naddala Yisirayiri, kw’ossa okukubira ddala enfo za America eziri mu kitundu kino.
Aba Houthi Trump yagambye nti bazze bataataaganya eby’obusuubuzi ku Red Sea, ensi n’efiirwa obuwumbi n’obuwumbi bwa ssente, kw'ossa okukuba ennyonyi za America ennwaanyi, n’enfo z’amagye gaayo.
Wabula mu kwanukula, Iran ng’eyita mu minisita waayo ow’ensonga z’ebweru Abbas Araghchi nayo eboggodde n’egamba nti America terina buyinza okusalirawo Iran ku biki by’erina okukola n’abaani b’erina okukolagana nabo ebweru waayo, era bajja kusigala nga bavujjirira buli gwe balowooza nti atuukiriza ebiruubirirwa byabwe.
Yagambye nti America bw’eba eyagala emirembe, erekeraawo okuvujjirira ekitta bantu ekikolebwa Yisirayiri e Gaza ne West Bank mu Bapalasitiina.
Ate ye omuduumizi w’amagye ga Iran, Hossein Salami yagambye nti America singa kagitanda n’ekola obulumbaganyi ku Iran, bajja kugyanukuza na bukambwe, Trump ategeere nti nabo bazimbye amaanyi agamala okusobola okwang’anga abalabe baabwe.
Obunkenke wakati wa Trump ne Iran buzze bweyongera, ng’entabwe eva ku Yisirayiri okulumiriza Iran nti y’evujjirira obubinja obugitawaanya, okuli aba Hamas e Palasitiina, aba Hezbollah e Lebanon, n’aba Houthi e Yemen, ate ng’eri mu kuyiiya bbomu za nukiriya.
America ne Yisirayiri bagamba nti tebasobola kukkiriza ggwanga lya batujju kufuna bbomu za nukiriya, era Trump gye buvuddeko yawandiikidde omukambwe wa Iran Ayatollah Ali Hosseini Khamenei ng’amusaba bateese, eby’okukola bbomu ya nukiriya abiveeko.
Wabula kino Ayatollah yakigaanye, n’agamba nti tasobola kutuula na Trump.