Amawulire

Temukotoggera bitone bya baana bammwe - Maama w'omugenzi Majid Musisi

MAAMA w’omugenzi Majid Musisi eyali omusambi w’omupiira asabye abazadde obutakotoggera bitone by’abaana baabwe wabula babayambeko okubisitula.

Temukotoggera bitone bya baana bammwe - Maama w'omugenzi Majid Musisi
By: Moses Lemisa, Journalists @New Vision

Magidu Musisi  yali muzannyi wa mupiira  gw’eggwanga. Yafa mu December wa 2006  era buli mwaka abaffamire ye nga bakulemberwamu maama we Deborah Namutebi  bamusabira nga luno dduwa yabadde  mu maka ge yazimbira maama we e Makerere Kikoni mu minisipaali y'e Kawempe .

Omugenzi Majidu Musisi

Omugenzi Majidu Musisi

Namutebi yagambye nti Musisi omupiira yasooka kuguzannyira Mulago ku kisaawe  nga mu kusooka yali yagumugaana wabula olw’okuba kye kyali ekitone kye yatuuka ekiseera n'amuleka.

Namutebi N'abamu ku  Baana B'omugenzi Magidu Musisi Ku (ddyo) Mukasa Ssemakula Muganda W'omugenzi Majidu

Namutebi N'abamu ku Baana B'omugenzi Magidu Musisi Ku (ddyo) Mukasa Ssemakula Muganda W'omugenzi Majidu

Yagasseeko nti abazadde balina okuyamba ku baana okutumbula ebitone byabwe , n'asaba gavumenti okufuna ekintu kye babbula mu Musisi oba kuzimba kisaawe ne bakimubulamu kuba yakolera nnyo eggwanga n’okulitunda mu nsi z’ebweru .

Namutebi Lwe Yafuna Ekirabo Kya Musisi  Wano Pulezidenti Yali Akimukwasa

Namutebi Lwe Yafuna Ekirabo Kya Musisi Wano Pulezidenti Yali Akimukwasa

Yagasseeko  n’asaba abazadde obutalulunkanira  bya bugagga by’abaana baabwe nga balina okumatira n’ekitono  ebaweereddwa  kuba ye ku by’obugagga by’omugenzi Musisi talina kye yatwalako byonna yabigabira baana.

Dduwa yalombeddwa Sheikh Muhammad Muyomba  eyasabye abantu okusabira ng’abagenzi basobole okuwummula emirembe , yagasseeko n’asaba Bannayuganda okukomya ensaalwa ku bannaabwe ababasingako wabula bamatire n’ebyo  Katonda by’abawadde .

Tags: