Eyafudde ye Emmeline Bagonza 41 nga abadde musawo ku ddwaaliro lya IMC Medical Hospital e Naggulu ng'okutomerwa mmotoka abadde atambulira ku Bodaboda etategeerekese nnamba oluvannyuma lw’omugoba waayo okudduka bwe yalabye nga Bagonza afudde.
Emmotoka egambibwa okuvaako akabenje kano kika kya taxi nnamba UAW 332T nga ebadde eva ku ludda lwe Jinja nga edda Kampala.
Kigambibwa nti emmotoka eno eyabadde ku misinde egya yiriyiri bwe yatuuse ku bitaala ebyabadde bikutte e Nakawa n’eremererwa okusiba n’atomere pikipiki eyabadde eweese Dr. Bagonza n’emunyigira ku mmotoka endala UBJ 885Q ebadde mu maaso era Bagonza n’afiirawo.
Omugoba wa Bodaboda bwe yalabye nga Bagonza afudde n’avuga pikipiki n’adduka.
Abaserikale nga basitulawo omulambo gwa Dr. Bagonza
Omwogezi wa poliisi y’ebidduka , Faridah Nampiima yakakasizza akabenje kano n’ategeeza nti ddereeva wa takisi egambibwa okuvaako akabenje kano; Yudah Bukenya bwe yakwatiddwa era nga mu kiseera kino ali mu mikono gya poliisi n’emmotoka zombi ezeenyigidde mu kabenje zaakwatiddwa ne zitwalibwa ku poliisi ya Jinja Road ng’okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso.
Endagamuntu ya Dr. Bagonza
Oluvannyuma Poliisi okuva ku Jinja road yatuukidde mu budde n'eggyawo omulambo gwa Bagonza ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago okwongera okwekebejjebwa.
Kitalo ekya Dr. Bagonza!