Takisi ganyegenya ku bitaala by'e Nakawa etomedde Dr. wa IMC ng'adda ku mulimu n'emuttirawo

EMMOTOKA  eremeredde omugoba waayo n’egaana okusiba  ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja akawungeezi  k’Olwokutaano okukkakana ng'etuze Dr n'emutta.

Dr. Bagonza eyafiiridde mu kabenje
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

Eyafudde ye Emmeline Bagonza  41 nga  abadde musawo ku ddwaaliro  lya IMC Medical Hospital e Naggulu ng'okutomerwa mmotoka  abadde atambulira ku Bodaboda etategeerekese nnamba oluvannyuma lw’omugoba waayo okudduka bwe yalabye nga Bagonza  afudde.

Emmotoka egambibwa okuvaako akabenje kano  kika kya taxi nnamba  UAW 332T nga ebadde eva ku ludda lwe Jinja nga edda Kampala.

Kigambibwa nti emmotoka eno eyabadde ku misinde egya yiriyiri bwe yatuuse ku bitaala ebyabadde bikutte e Nakawa n’eremererwa okusiba n’atomere pikipiki eyabadde eweese  Dr. Bagonza n’emunyigira ku mmotoka endala  UBJ 885Q ebadde mu maaso era Bagonza n’afiirawo.

Omugoba wa Bodaboda bwe yalabye nga Bagonza afudde n’avuga pikipiki n’adduka.

Abaserikale nga basitulawo omulambo gwa Dr. Bagonza

Abaserikale nga basitulawo omulambo gwa Dr. Bagonza

Omwogezi  wa poliisi y’ebidduka , Faridah Nampiima yakakasizza akabenje kano n’ategeeza nti ddereeva wa takisi egambibwa okuvaako akabenje kano; Yudah Bukenya bwe yakwatiddwa  era nga mu kiseera kino ali mu mikono gya poliisi n’emmotoka zombi  ezeenyigidde mu kabenje zaakwatiddwa ne zitwalibwa ku poliisi ya Jinja Road ng’okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso.

Endagamuntu ya Dr. Bagonza

Endagamuntu ya Dr. Bagonza

Oluvannyuma Poliisi okuva ku Jinja road yatuukidde mu budde n'eggyawo omulambo gwa Bagonza ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago okwongera okwekebejjebwa.

Kitalo ekya Dr. Bagonza!